bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 20
Leviticus 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 21 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna mu Baisiraeri, oba mu bannamawanga abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, anattibwanga abantu bonna nga bamukuba amayinja.
3
Era nange naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu bange; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, naayonoonyesa awatukuvu wange, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu.
4
Naye abantu ab'omu nsi bwe bataafengayo ku kibi ky'omuntu oyo awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki ne batamutta,
5
Nze, nze nnyini naamusunguwaliranga, ye n'ab'omu nnyumba ye, ne bonna abamwegattako okusinza Moleki ne mbaboola okuva mu bantu bange.”
6
“Omuntu yenna bw'anaanvangako n'agenda eri abasamize n'abalogo, naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu be.
7
Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
8
Era mwekuumenga amateeka gange, mugakwatenga; Nze Mukama abatukuza.
9
Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina anattibwanga, anaabanga yeeleetedde yekka okuttibwa.
10
Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga.
11
Omusajja yenna aneegattanga ne muka kitaawe, anaabanga akoze ekivve, era abantu abo bombi banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
12
Omusajja bw'aneegattanga ne muka mwana we, nga bakoze ekivve, bombi banattibwa; be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
13
Omusajja bw'aneegattanga ne musajja munne, nga bwe yandyegasse n'omukazi, nga bakoze eky'omuzizo; banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
14
Omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kivve; bonsatule banaayokebwanga omuliro; temukkirizanga kibi ng'ekyo kubeera mu mmwe.
15
Omusajja bw'aneegattanga n'ensolo, anattibwanga; n'ensolo nayo enettibwanga.
16
Omukazi aneegattanga n'ensolo anattibwanga, n'ensolo nayo n'ettibwa, ye n'ensolo eyo bye binaabanga byereetedde byokka okuttibwa.
17
Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba wa nnyina, banaabanga bakoze eky'obuwemu; banaabolebwanga okuva mu bantu baabwe, era omusajja oyo eyeegatta ne mwannyina anaavunaanibwanga olw'ekibi ekyo.
18
Omusajja bw'aneegattanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaabolebwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.
19
Teweegattanga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.
20
Omusajja bw'aneegattanga ne muka kitaawe omuto oba muka kojjaawe, nga bakoze ekivve, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe, era balifa nga bagumba.
21
Omusajja bw'aneegattanga ne muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we, era baliba bagumba.”
22
“Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna ne mubituukirizanga; ensi gye mbatwala okubeeramu ereme okubagaana.
23
Temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe; kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyennava mbakyawa.
24
Naye mmwe n'abagamba nti, ‘Mulisikira ensi yaabwe, ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.
25
Kale munaayawulanga ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi ennongoofu n'eteri nnongoofu. Temufuukanga batali balongoofu nga mulya ensolo, oba ennyonyi, oba ekintu kyonna ekyewalula ku nsi, bye nnabagaana.
26
Munaabanga batukuvu gye ndi; kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nnabaawula mu mawanga mubeere abange.”
27
“Omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, banaakubibwanga amayinja ne bafa, be banaabanga bereeseeko bokka okuttibwa.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27