bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 17
Leviticus 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti, Ekigambo kino Mukama ky'alagidde:
3
Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira,
4
n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekiweebwayo eri Mukama, mu maaso g'ennyumba ya Mukama; anaavunaanibwanga omusango gw'okuyiwa omusaayi, era anaaboolebwanga mu bantu be.
5
Abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe ze babadde baweerayo mu ttale mu bbanga, bazireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
6
Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
7
Abaisiraeri balemenga okwongera okuba abatali beesigwa eri Mukama nga bawaayo ssaddaaka zaabwe eri ba katonda abali mu kifaananyi ky'embuzi ennume. Eryo linaabanga tteeka gyebali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.”
8
“Era onoobagamba nti, Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bannamawanga atuula mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9
n'atakireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu bantu be.”
10
“Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku munnaggwanga atuula mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange ku ye, era ne muboola okuva mu bantu be.
11
Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri buba mu musaayi, era ngubawadde okutangiriranga obulamu bwammwe ku kyoto; kubanga omusaayi gwe gutangirira obulamu.
12
Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti, Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, newakubadde mu nnaggwanga anaatuulanga mu mmwe.”
13
“Omuisiraeri yenna, oba munnaggwanga abeera mu Baisiraeri, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako enfuufu.
14
Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi gwakyo; kye nnava ŋŋamba aba Isiraeri nti, Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna, kubanga obulamu bw'ekirina omubiri kyonna buli mu musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.”
15
“Buli muntu, oba nzaalwa oba munnaggwanga anaalyanga ku nsolo efa yokka oba etaaguddwa ensolo, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi, n'alyoka aba mulongoofu.
16
Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukirivu bwe.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27