bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 8
Leviticus 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 9 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Twala Alooni n'abaana be, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okubafukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu emigaati egitazimbulukusiddwa;
3
okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.”
4
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
5
Musa n'agamba ekibiina nti, “Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola.”
6
Musa n'aleeta Alooni n'abaana be, n'abanaaza n'amazzi.
7
N'ayambaza Alooni ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amussaako omunagiro, n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olukoba olwo.
8
N'amussaako eky'oku kifuba; ne mu ky'okukifuba n'ateekamu Ulimu ne Sumimu.
9
N'amusiba ekiremba ku mutwe, era awo mu maaso gaakyo n'akisibako akapande aka zaabu, ye ngule entukuvu, nga Mukama bwe yamulagira.
10
Musa n'addira amafuta, n'agafuka ku Weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.
11
N'amansirako ne ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu, n'entobo yaakyo, okubitukuza.
12
N'afuka amafuta ku mutwe gwa Alooni okumutukuza
13
Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yamulagira.
14
N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi.
15
N'agitta; Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ku enjuyi zonna, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitangirira okukitukuza.
16
Musa n'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'abyokera ku kyoto.
17
Naye ennyama esigaddewo, n'eddiba, n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira nga Mukama bwe yamulagira.
18
N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
19
N'agitta; Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
20
N'asala mu ndiga ebitundu byayo; omutwe, n'ebitundu, n'amasavu n'abyokya.
21
N'anaaza n'amazzi ebyenda n'amagulu gaayo. Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto; yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi; yali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
22
N'aleeta endiga ennume eyokubiri, endiga ey'okwawula; Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
23
Musa n'agitta; n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwe okwa ddyo,
24
N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga omusaayi ku nsonda y'amatu gaabwe aga ddyo, ne ku bigere ebisajja eby'amagulu gaabwe aga ddyo, n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
25
N'addira amasavu, n'omukira omusava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'okukibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo;
26
ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukusiddwa ekyali mu maaso ga Mukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukusiddwa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo;
27
byonna n'abiteeka mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
28
Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa; byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi, kyali kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
29
Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yamulagira.
30
Musa n'atoola ku mafuta ag'okutukuza, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo byabwe; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be n'ebyambalo byabwe.
31
Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti, “Mufumbire ennyama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagirwa nti, ‘Alooni n'abaana be be banaabiryanga.’
32
Era ekinaafikkawo ku nnyama ne ku migaati, munaakyokya n'omuliro.
33
So temufulumanga mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe ziriggwaako; kubanga alibaawulira ennaku musanvu.
34
Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira.
35
Era ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.”
36
Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira ng'ayita mu Musa.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27