bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 21
Leviticus 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 22 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu yenna ku bo, eyeeyonoona ng'akoma ku w'oluganda lwe afudde;
2
Okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we,
3
oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye.
4
Teyeeyonoonanga olw'abo abafudde ku buko.
5
Tebeesalanga kiwalaata, wadde okukomola ekirevu, n'okwesala emisale ku mibiri gyabwe.
6
Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe; kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe; kyebanaavanga babeera abatukuvu.
7
Kabona tawasanga mukazi mwezi, oba eyagwagwawazibwa, oba eyagobebwa bba; kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we.
8
Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo; anaabanga mutukuvu gy'oli; kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.
9
Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe; anaayokebwanga omuliro.”
10
“N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu, eyafukibwako amafuta, n'ayawulibwa okwambala ebyambalo by'obwa kabona, tasumululenga nviiri ze, so taayuzenga byambalo bye olw'okukungubaga.
11
Taasembererenga mulambo gwonna, wadde ogwa kitaawe oba ogwa nnyina,
12
so talekanga mirimu gy'awatukuvu olw'abafu, kubanga yafukibwako amafuta amatukuvu aga Katonda.
13
Era anaawasanga omukazi atannamanya musajja.
14
Tawasanga nnamwandu, oba eyagobebwa bba, oba eyagwagwawazibwa, oba omwenzi, wabula awasanga omuwala ow'omu bantu be, atannamanya musajja.
15
So tavumisanga zzadde lye mu bantu be; kubanga nze ndi Mukama amutukuza.”
16
Mukama n'agamba Musa nti,
17
Gamba Alooni nti, “Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda we.
18
Omuntu yenna anaabangako obulema: omuzibe w'amaaso, awenyera, eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekikyamu ku mubiri gwe,
19
eyamenyeka okugulu, eyamenyeka omukono,
20
ow'ebbango, omutuutuuli, aliko obulema ku liiso, alina obuwere, omubootongo, oba eyayatika enjagi;
21
tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro n'ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda.
22
Ow'engeri eyo, anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu.
23
Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.”
24
Awo Musa n'agamba Alooni ne batabani be, ne Isiraeri yenna ebigambo ebyo.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27