bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 6
Leviticus 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu ebyo bye yateresebwa; oba ebyo ebyamusingirwa oba n'amunyaga oba n'amujooga;
3
oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba mu bigambo byonna ku ebyo byonna omuntu byakola ng'ayonoona bw'atyo,
4
kale anaabanga ayonoonye, era ng'aliko omusango. Annaazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyamuteresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula,
5
oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo ekyokutaano; alikiwa nannyini kyo ku lunaku lw'alizuulibwa ng'aliko omusango.
6
Era anaaleetanga eri kabona endiga ennume eteriiko bulema ey'omukisibo, nga bw'onosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusango eri Mukama.
7
Ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu ebyo byonna bye yasobya.”
8
Mukama n'agamba Musa nti,
9
“Lagira Alooni n'abaana be nti lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.
10
Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta; kale anaatwalanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro n'aliteeka ku mabbali g'ekyoto.
11
Awo anaayambulangamu ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira mu kifo weriyiibwa.
12
Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayongerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.
13
Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto ekiseera kyonna obutazikiranga.
14
“Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiweerangayo mu maaso ga Mukama, mu maaso g'ekyoto.
15
Era anaayolangako olubatu olw'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta n'omugavu, n'abwokera ku kyoto, okuba ekijjukizo eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
16
N'ekyo ekinaafikkangawo, nga tekirimu kizimbulukusa, Alooni n'abaana be banaakiriranga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
17
Tekyokebwanga nga kitabuddwamu ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.
18
Buli musajja ku baana ba Alooni, ng'etteeka ennaku zonna, mu mirembe gyammwe gyonna, banaalyanga ku biweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.”
19
Mukama n'agamba Musa nti,
20
“ Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta: ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi.
21
Bunaagoyebwanga n'amafuta ku kikalango; on'obuleetanga nga butabuddwa bulungi mu bitole ebyokeddwa, nga bwe kiri mu kiweebwayo eky'obutta, okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
22
Era kabona ava mu lubu lwa Alooni, eyafukibwako amafuta okumusikira, anaakiwangayo eri Mukama, ne kyokebwa kyonna, ng'etteeka eritajjulukuka ennaku zonna.
23
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna; tekiriibwanga.”
24
Mukama n'agamba Musa nti,
25
“Gamba Alooni n'abaana be nti, Lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama; kye kitukuvu ennyo.
26
Kabona akiwaayo olw'ekibi y'anaakiryanga; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
27
Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu; era omusaayi bwe gunaamansirwanga ku kyambalo kyonna, kinaayolezebwanga mu kifo ekitukuvu.
28
Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga; era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaakuutibwanga era ne kinyumunguzibwa n'amazzi.
29
Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kye kitukuvu ennyo.
30
So tewabangawo kiweebwayo olw'ekibi ekitooleddwako omusaayi gwakyo nga guyingizibbwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, ekinaalibwangako; wabula kinaayokebwanga n'omuliro.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27