bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 23
Leviticus 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 24 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
Embaga ennonde eza Mukama okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu ze zino.
3
Ennaku omukaaga zinaakolerwangako emirimu; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ey'okuwummula n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Olwo ye Ssabbiiti ya Mukama mu nnyumba zammwe zonna.
4
“Zino ze mbaga ennonde eza Mukama, okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo.
5
Mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, ye mbaga y'Okuyitako.”
6
“Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eri Mukama; munaagiriiranga ennaku musanvu.
7
Ku lunaku olwolubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.
8
Naye ennaku musanvu munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.”
9
Mukama n'agamba Musa nti,
10
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, muleetanga ekinywa eky'ebibereberye eri kabona;
11
naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, kiryoke kikkirizibwe.
12
Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema, ogutannaweza mwaka okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
13
N'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa, eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, okuba evvumbe eddungi; n'ekiweebwayo kyakwo eky'okunywa kinaabanga ekitundu kimu ekyokuna ekya ini eky'envinnyo.
14
Temulyanga ku mugaati, wadde ku ŋaano ensiike, oba ey'ebirimba ebibisi, okutuusa nga mumaze okuleeta ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe; eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, mu nnyumba zammwe zonna.”
15
“Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti gye muleteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama.
16
Olunaku olw'ataano oluddirira Ssabbiiti ey'omusanvu munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama.
17
Buli nnyumba eneereetanga emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa; ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama.
18
Awamu n'emigaati egyo, munaaleetanga abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema, abatannaweza mwaka; ente ennume ento emu, n'endiga ennume bbiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Awamu n'ebyo munaaleeterangako ekiweebwayo kyakwo eky'obutta n'eby'okunywa byakwo. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
19
Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ento ennume bbiri ezitannaweza mwaka, okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
20
Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi; binaabanga bitukuvu eri Mukama era binaabanga bya kabona.
21
Era ku lunaku olwo munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna, mu mirembe gyammwe gyonna.”
22
“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebyo ebiba bisigaddemu; munaabirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.”
23
Mukama n'agamba Musa nti,
24
“Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, n'okukuŋŋaana okutukuvu okunaalangirirwanga n'okufuuwa amakkondeere.
25
Temulukolerangako mulimu gwonna; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.”
26
Mukama n'agamba Musa nti,
27
“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, lwe lunaku olw'okutangiririrako; munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu ne mwebonereza nga musiiba; era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
28
Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo; kubanga lwe lunaku olw'okubatangiririrako mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
29
Omuntu yenna ateebonerezenga ng'asiiba, ku lunaku olwo, anaaboolebwanga mu bantu be.
30
Era buli muntu anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo; n'amuboolanga n'aggyibwa mu bantu be.
31
Temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna, yonna gye munaabeeranga.
32
Lunaabanga gye muli Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako, nammwe muneebonerezanga nga musiiba, okuva akawungeezi ku lunaku olw'omwenda okutuusa akawungeezi ku lunaku oluddirira, munaakuumanga Ssabbiiti yammwe.”
33
Mukama n'agamba Musa nti,
34
“Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira eri Mukama okumala ennaku musanvu.
35
Ku lunaku olwolubereberye ku zo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna.
36
Ku buli lumu ku nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; era ne ku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Kwe kukuŋŋaana okukulu; temulukolerangako mulimu gwonna.”
37
“Ezo ze nnaku enkulu ez'embaga eza Mukama z'abalagidde. Munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu ne muwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, buli kimu ku lunaku lwakyo.
38
Embaga ezo zeyongedde ku Ssabbiiti za Mukama eza bulijjo, era n'ebiweebwayo ebyo byeyongedde ku bya bulijjo bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”
39
“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuumanga embaga ya Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunnaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okw'okwewombeeka.
40
Era ku lunaku olwolubereberye munaatwalanga ebibala by'emiti egisinga obulungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti ag'ebikoola ebiziyivu, n'emiti egy'oku migga; munaasanyukiranga ennaku musanvu, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
41
Buli mwaka, mu mwezi ogw'omusanvu munaakuumanga embaga ya Mukama eno, okumala ennaku musanvu. Lino lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
42
Abaisiraeri bonna banaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu,
43
bazzukulu bammwe bonna balyoke bamanye nti bajjajjaabwe bwe baali bava mu nsi ey'e Misiri, nnababeezanga mu nsiisira: Nze Mukama Katonda wammwe.”
44
Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga Mukama ze yalagira.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27