bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 13
Leviticus 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 14 →
1
Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2
Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kubutuka oba mbalabe erungudde ku lususu lwe, ekiyinza okuvaamu endwadde y'ebigenge, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona.
3
Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu; era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kisensedde wansi w'olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu.
4
Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku lususu, naye ekifaananyi kyayo nga tekisensedde wansi w'olususu, n'obwoya bwawo nga tebwerukiridde, kale kabona anaamwawulanga mu bantu okumala ennaku musanvu.
5
Awo ku lunaku olw'omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, nga tebunye lususu lwonna, anaddangamu okumwawula mu bantu ennaku musanvu endala.
6
Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, era endwadde bw'enaabanga tekyalabika nnyo, nga tebunye ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu, nga kubadde kubutuka bubutusi; anaayozanga engoye ze, n'aba nga mulongoofu.
7
Naye okubutuka bwe kunaabunanga ku lususu ng'amaze okweraga eri kabona, olw'okulongoosebwa kwe, anaddangamu okweraga nate eri kabona.
8
Kabona anaamukeberanga, era okubutuka bwe kunaabanga kubunye ku lususu, anaamwatuliranga nti alwadde ebigenge; si mulongoofu.
9
“Endwadde y'ebigenge bw'eba ng'ekutte omuntu, anaaleetebwanga eri kabona;
10
kabona anaamukeberanga, kale ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku lususu era nga kifudde obwoya okuba obweru era ekizimba nga kirungudde;
11
ebyo nga bye bigenge ddala ddala, era kabona anaamulangiriranga nga si mulongoofu.
12
Era endwadde y'olususu bw'efuutukanga, n'ebuna omubiri gwonna ogw'omulwadde okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, kabona anaamukeberanga,
13
awo kabona bw'anaalabanga nga byeru bweru ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu.
14
Olususu bwerunaalunguulanga, anaabanga atali mulongoofu.
15
Awo kabona anaakeberanga awalungudde, n'amwatulira nti alwadde ebigenge; si mulongoofu.
16
Naye okulunguula bwe kukyukanga nate ne kufuuka olususu olweru, kale anajjanga eri kabona,
17
kabona anaamukeberanga era bw'anaalabanga ng'olususu lufuuse olweru, kale anaayatuliranga omulwadde nti mulongoofu.”
18
“Omuntu bw'analwalanga ejjute neriwona,
19
awabadde ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru oba embalabe erungudde enjeruyeru oba emyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona.
20
Awo kabona anaakeberanga, era ekizimba bwe kinaalabikanga nga kisensedde wansi w'olususu n'obwoya bwawo nga bwerukiridde, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; nga ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.
21
Naye kabona bw'anaakikeberanga, era laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekisensedde wansi w'olususu era nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu.
22
Awo bwe kinaabunanga ku lususu, kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; eyo y'endwadde y'ebigenge.
23
Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye nkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
24
“Omuntu bw'anayokebwanga omuliro ku lususu ne kubaako embalabe erungudde, enjeruyeru oba emmyukirivu,
25
awo kabona anaagikeberanga, era bwe wanaalabikanga ng'obwoya obw'omu mbalabe erungudde nga bwerukiridde era ng'embalabe esensedde wansi w'olususu; ebyo nga bye bigenge ebifulumye awayokebbwa. Kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu.
26
Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tesensedde wansi w'olususu, naye nga terabika bulungi, kale kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu.
27
Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ku lususu lwonna, kale anaamwatuliranga nga si mulongoofu, eyo nga y'endwadde ey'ebigenge.
28
Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku lususu, era ng'okulunguula kukendedde, ekyo nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu; kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.
29
“Omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kalevu,
30
kabona anaakeberanga endwadde eyo, era bw'anaakizuulanga ng'esensedde wansi w'olususu era nga mulimu n'e nviiri eza kyenvu ez'entalaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu, ekyo nga kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kalevu.
31
Era kabona bw'anaakeberanga oyo alwadde ekikakampa n'alaba nga tekisensedde wansi w'olususu, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamwawulanga okuva mu bantu okumala ennaku musanvu.
32
Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'ekikakampa tekibunye mu mutwe oba ku kalevu, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga tekisensedde wansi w'olususu,
33
kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era anaamwawulanga okuva mu bantu, okumala ennaku musanvu endala.
34
Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaakeberanga ekikakampa nate, bw'anaakizuulanga nga tekibunye lususu lwonna, era nga tekisensedde wansi waalwo, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu, era anaayozanga engoye ze n'aba mulongoofu.
35
Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku lususu ng'amaze okulongoosebwa;
36
awo kabona anaamukeberanga; bw'anaalabanga ng'ekikakampa kibunye ku lususu, tanoonyanga nviiri za kyenvu, oyo si mulongoofu.
37
Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo nga mulongoofu; kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
38
“Era omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'embalabe enjeru ezirungudde ku lususu lwe;
39
kale kabona anaamukeberanga; awo embalabe ezirungudde, eziri ku lususu bwe zinaabanga enjeruyeru, nga bwe butulututtu obufulumye mu lususu; oyo nga mulongoofu.”
40
“Era omusajja bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; era nga mulongoofu.
41
Era bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'omu kawompo, nga wa kiwalaata kya mu kawompo; naye nga mulongoofu.
42
Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ak'ekiwalaata; ebyo nga bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata.
43
Awo kabona anaamukeberanga; kale, laba, ekizimba bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata, ng'endwadde y'ebigenge bw'ebeera ku lususu;
44
Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu olw'ebigenge ebiri ku mutwe gwe.”
45
“Omugenge anaayambalanga engoye enjulifuyulifu, n'enviirize tazisibangako, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayogereranga waggulu nti, Siri mulongoofu, siri mulongoofu.
46
Ekiseera kyonna ky'anaamalanga nga mulwadde, anaabeeranga atali mulongoofu; anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.”
47
Era ekyambalo kyonna ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kya byoya bya ndiga, oba kya bafuta;
48
bwe bibanga mu wuuzi ez'olugoye lw'ekyambalo, oba kya bafuta oba kya byoya, oba kya ddiba, oba ku kintu ekikoleddwa mu ddiba,
49
era endwadde bw'ebanga eyakiragala oba mmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba oba ku wuuzi ez'olugoye, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ye ndwadde ey'ebigenge era eneeragibwanga kabona.
50
Awo kabona anaakeberanga endwadde, n'ayawula ekyambalo ekiriko endwadde okumala ennaku musanvu.
51
Oluvannyuma lw'ennaku omusanvu, kabona anaddangamu n'akebera ekyambalo nate, endwadde bw'eneerabikanga ng'ebunye ku kyambalo kyonna oba ku ddiba, oba ku kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo; nga si kirongoofu.
52
Ekyambalo kyonna oba kya wuuzi, oba kya byoya, oba kya bafuta oba kya kintu ekikolebwa mu ddiba ekiriko ebigenge ebizibu ennyo kinaayokebwanga n'omuliro.
53
Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kyambalo ekyo, newakubadde ekintu kyonna ekikoleddwa mu ddiba;
54
awo kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, era anaakyawulanga okumala ennaku musanvu endala.
55
Awo kabona bw'anaakeberanga ekyambalo, oba ekintu kyonna ekimaze okwozebwa, n'alaba ng'endwadde tekyusizza langi yaayo, so nga tebunye wonna; oba kungulu w'ekyambalo oba ekintu ekirala kyonna, nga si kirongoofu; anaakyokyanga n'omuliro.
56
Oluvannyuma lw'okwoza ekyambalo, kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde teyeeyongedde kusaasaana, kale anaayuzangawo ekiwero awali endwadde.
57
Naye bw'anaakizuulanga oluvannyuma lw'okwozebwa ng'endwadde esaasaana busaasaanyi, anaakyokyanga.
58
N'ekyambalo kyonna eky'olugoye oba eky'ekintu kyonna eky'eddiba bwe kinaayozebwanga n'ekirabika ng'endwadde evuddemu, kinaayozebwanga nate omulundi ogwokubiri ne kiryoka kiba kirongoofu.
59
Eryo lye tteeka ly'endwadde y'ebigenge erikwata ku kyambalo kyonna oba kya byoya, oba kya bafuta, oba kya kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; okunasinziirwanga okukirangirira oba nga kirongoofu oba nga si kirongoofu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27