bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 16
Leviticus 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 17 →
1
Mukama n'ayogera ne Musa, nga babiri ku batabani ba Alooni bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa.
2
N'amugamba nti, “Gamba Alooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde mu watukuvu, munda w'eggigi, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku ssanduuko aleme kufa; kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.
3
Alooni anaajjanga na bino mu watukuvu: ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
4
Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkuffiira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala
5
Ekibiina ky'abaana ba Isiraeri kinaaleetanga embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ne Alooni anaaleetanga ente ennume eyiye ku bubwe, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, okwetangirira ye n'ennyumba ye.”
6
“Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.
7
Awo anaaddiranga embuzi zombi n'azireeta mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
8
Anaazikubiranga obululu. Akalulu akamu ka Mukama n'ak'okubiri ka Azazeri.
9
Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
10
N'embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneeretebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu okumutangirira era eneesindiikirizibwanga eri Azazeri mu ddungu.”
11
“Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, n'agitta ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.
12
Awo anaaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa obulungi ennyo n'abireeta munda w'eggigi.
13
Anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka gwabwo gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa aleme okufa.
14
Awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ku ludda olw'ebuvanjuba; era n'agumansira n'engalo ye mu maaso g'entebe ey'okusaasira emirundi musanvu.
15
Awo anaattanga embuzi ey'abantu ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi n'akola nga bwakoze ku musaayi gw'ente ennume, ng'agumansira ku ntebe ey'okusaasira ne mu maaso gaayo,
16
era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna; era bw'atyo bw'anaakolanga n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu bo olw'obutali bulongoofu bwabwe.
17
So temubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Alooni ayingidde mu watukuvu okutangirira, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okwetangirira ye, n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri.
18
Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira; n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.
19
N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.
20
Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu;
21
awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agikwasa omuntu ateekeddwateekeddwa, n'agisindiikiriza mu ddungu.
22
Embuzi eyo eneettikkanga obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu; kale embuzi anaagiteeranga eyo mu ddungu.”
23
“Awo Alooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambulamu ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo;
24
awo anaanaabanga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.
25
N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26
Omuntu oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27
Ente ennume n'embuzi ezagiddwako omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.
28
N'omuntu oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.”
29
“Era lino linaabanga etteeka gye muli emirembe gyonna. Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'omusanvu, muneebonerezanga, so temukolanga mulimu gwonna; enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe;
30
kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga ebibi byammwe byonna okuba abalongoofu mu maaso ga Mukama.
31
Olunaku olwo ye Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako gye muli, era muneebonerezanga; eryo lye tteeka ery'emirembe gyonna.
32
Era kabona, anaafukibwangako amafuta, era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga ng'ayambadde ebyambalo ebitukuvu ebya bafuta;
33
era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina.
34
Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka.” Musa n'akola byonna, nga Mukama bwe yamulagira.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27