bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 1
Proverbs 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
1
Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
2
Ziyamba abantu okufuna amagezi n'okuyigirizibwanga; Okutegeera amakulu g'ebigambo ebikusike.
3
Ziyigiriza amagezi ag'okukolanga eby'amagezi, Eby'obutuukirivu, eby'amazima ne by'obwenkanya.
4
Ziyigiriza abatalina magezi obukabakaba, Ziwa abavubuka okumanya n'okutegeera.
5
Ow'amagezi bw'aziwulira yeeyongerenga okuyiga, Era omusajja ategeera ayige okukolanga ebituufu.
6
Okutegeeranga engero n'ebigambo ebigumu. Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe.
7
Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.
8
Mwana wange, wuliranga okuyigiriza kwa kitaawo, So tova mw'ebyo nnyoko bya kugamba.
9
Kubanga binaakuyambanga okulungiya empisa zo, Ng'eky'okumutwe n'emikuufu gy'omu bulago, bwe biwoomera ababyambala.
10
Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasendanga, Tokkirizanga.
11
Singa bagamba nti, “Jjangu tugende fenna, Tuteege omuntu, Tuzinde mu kyama ataliiko musango, tumulumbe awatali nsonga,
12
Tubafuukire amagombe, tubamire nga bakyali balamu, Basaanewo nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;
13
Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo ennyo, Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago.
14
Jjangu otwegatteko naawe, Tunnagabaniranga wamu omunyago.”
15
Mwana wange, tokirizanga kugenda nabo, Era tobeesemberezanga,
16
Kubanga bagenderera okukola obubi, Era tebalwawo kuyiwa musaayi.
17
Otegera bwereere ekitimba, Ennyonyi gy'otega nga ekulaba.
18
Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bo, Bafiira mu mitego gyabwe bo.
19
Bwe batyo bwe babeera abafuna ebintu nga banyaga: Baba besse bokka.
20
Amagezi googerera waggulu mu luguudo; Gakoowoolera mu bifo ebigazi;
21
Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu kibuga, Wegoogerera ebigambo byago:
22
“Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
23
Mukyuke olw'okunenya kwange: Nnaabamanyisa ekindi ku mwoyo, Nnaabamanyisa ebigambo byange.
24
Kubanga mbayise ne mugaana okuwulira, Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo;
25
Temufuddeyo ku kubuulirira kwange kwonna, So temwagadde mbanenye n'akatono:
26
Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku; Ndikudaala entiisa yammwe bwerituuka.
27
Entiisa bw'eribajjira ng'omuyaga, Akabi ne kabeetooloola ng'embuyaga ey'akazimu, Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira.
28
Kale bwe balimpanjagira, nange siribaddamu. Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba:
29
Kubanga baakyawanga okumanya, Era tebalondawo kutya Mukama.
30
Tebaayagalanga kubuulirira kwange n'akatono, Baanyoomanga okunenya kwange kwonna.
31
Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo, Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.
32
Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta, Obutafaayo bw'abasiru bulibazikiriza.
33
Naye buli anaawuliranga bye ŋŋamba anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31