bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 13
Proverbs 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
1
Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa.
2
Omuntu omulungi afuna ebirungi olw'ebigambo by'ayogera; Naye omuntu ow'enkwe yeegomba kukola bya bukambwe.
3
Oyo eyeegendereza mu kwogera, akuuma obulamu bwe; Naye ayogerayogera ennyo, yeereetera okuzikirira.
4
Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba, naye tafuna bye yeegomba. Naye omunyiikivu, agaggawala.
5
Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi omugwagwa, akola ebiswaza.
6
Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ebibi bisuula omwonoonyi.
7
Waliwo abeeyisa ng'abagagga, naye nga talina kantu. Ne wabaawo eyeeyisa ng'omwavu, naye ng'alina obugagga bungi.
8
Obugagga bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, talina kiyinza kumununula.
9
Abatuukirivu bayakayakana ng'ettaala eyaka, Naye ababi balinga ettaala ezikidde.
10
Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abakkiriza okubuulirirwa.
11
Obugagga obufunibwa amangu, era buggwaawo mangu. Naye oyo akuŋŋaanya empolampola, ng'akola emirimu aligaggawala.
12
Okulwawo okufuna ky'osuubira, kulwaza ebirowoozo; Naye oyo afuna kye yeegomba addamu obulamu.
13
Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo agondera ekiragiro aliweebwa empeera.
14
Enjigiriza y'ab'amagezi, nsuulo ya bulamu, Eggya abantu mu kufa.
15
Obutegeevu buleetera omuntu okuganja; Naye ekkubo lya b'enkwe, libaleetera okuzikirira.
16
Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya; Naye omusirusiru ayolesa obutamanya bwe.
17
Omubaka omubi, assa abantu mu mitawaana; Naye omutume omwesigwa aleetawo okuwonyezebwa.
18
Obwavu n'okuswala bijjira oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa.
19
Omuntu asanyuka kye yeegomba bwakifuna; Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.
20
Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye akwana abasiru, wa kulaba nnaku.
21
Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi.
22
Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu.
23
Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi; Naye abatali benkanya tebaabaganya kugirya.
24
Atabonereza mwana we, aba amukyaye; Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.
25
Omutuukirivu alya, emmeeme ye n'ekkuta: Naye omubi alumwa enjala bulijjo.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31