bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 21
Proverbs 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
1
Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa n'aguza gy'ayagala yonna.
2
Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama y'apima emitima.
3
Okukola ebituufu n'obwenkanya, Kukkirizibwa Mukama okusinga okumuwa ssaddaaka.
4
Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ebyo byombi bibi.
5
Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; Naye oyo alulunkanira ebintu, yeereetako obwavu.
6
Obugagga obufunibwa mu bulimba, Buyita nga mpewo, ababunoonya banoonya okufa.
7
Obukambwe bw'ababi bulibamalawo, Kubanga bagaana okukola eby'amazima.
8
Ekkubo ly'oyo azziza omusango si golokofu; Naye omulongoofu yeeyisa bulungi.
9
Waakiri okubeera mu kasonda ku nnyumba waggulu, N'otoba na mukazi muyombi, mu nnyumba engazi.
10
Emmeeme y'omubi yeegomba okukola ebibi, Teyinza kusaasira muntu mulala yenna.
11
Omunyoomi bw'abonerezebwa: atalina magezi ayiga; Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa yeeyongera okumanya.
12
Katonda omutuukirivu, amanyi ebiri mu nnyumba y'omubi; Ababi balimeggebwa ne bazikirira.
13
Aziba amatu ge omwavu ng'akaaba, Naye bwalikaaba, taliwulirwa.
14
Ekirabo ekiweebwa mu kyama kikkakkanya obusungu, N'okuyiiyiza omuntu ekirabo, kimumalako ekiruyi.
15
Okukolanga eby'amazima kisanyusa omutuukirivu; Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.
16
Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu.
17
Ayagala amasanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'ebyasava, taligaggawala.
18
Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe addamu kifo ky'abagolokofu.
19
Waakiri okubeera, mu nsi ey'eddungu, Okusinga okubeera n'omukazi anyiiganyiiga era omuyombi.
20
Mu nnyumba y'omuntu ow'amagezi, mubeeramu obugagga obw'omuwendo omungi; Naye omusiru abumalawo byonna.
21
Agoberera obutuukirivu n'ekisa, alifuna obulamu n'ekitiibwa.
22
Omulwanyi ow'amagezi awangula ekibuga ky'ab'amaanyi, N'amenya ebisenge byakyo bye beesiga.
23
Buli eyeegendereza mu by'ayogera, Yeewonya emitawaana.
24
Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, ayitibwa munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala.
25
Okwegomba okw'omugayaavu kwe ku mutta; Kubanga tayagala kukola mirimu.
26
Olunaku lwonna, omubi yeegomba okubaako ky'afuna; Naye omutuukirivu takodowala, agaba.
27
Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Naddala bwe bagireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi, tesinga nnyo okuba ey'omuzizo?
28
Omujulirwa ow'obulimba alizikirizibwa; Naye omuntu awuliriza by'ayogera bikkirizibwa.
29
Omuntu omubi yeekazakaza; Naye omugolokofu yeegendereza amakubo.
30
Tewali magezi na kutegeera, Wadde okuteesa kw'omuntu, ebisinga Mukama.
31
Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo, Naye okuwangula kuva eri Mukama.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31