bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 31
Proverbs 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
1
Ebigambo bya kabaka Lemweri; nnyina bye yamuyigiriza.
2
Kiki, mwana wange? Era kiki, ayi mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ayi mwana w'obweyamo bwange?
3
Amaanyi go, togamaliranga ku bakazi; Newakubadde amakubo go kubanga bazikiriza ne bakabaka.
4
Si kwa bakabaka, ayi Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okunoonyanga ekitamiiza.
5
Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne basaliriza abantu abanyigirizibwa.
6
Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa, N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike:
7
Anywenga yeerabirenga obwavu bwe, Alemenga okujjukira nate ennaku ye.
8
Yogereranga abatalina bwogerero, Olwanirirenga abataliiko mwasirizi.
9
Yogeranga, osalenga emisango mu bwenkanya, Olwanirirenga abaavu n'abali mu bwetaavu.
10
Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusingira wala amayinja ag'omuwendo ennyo.
11
Omutima gwa bba gumwesiga, Era aba wa mugaso gy'ali.
12
Ayisa bulungi bba, Ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13
Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba, N'akola emirimu n'engalo ze n'essanyu.
14
Ali ng'amaato ag'abasuubuzi; Emmere ye agiggya wala.
15
Era agolokoka ku makya nga tebunnalaba, N'awa ab'omu nnyumba ye eby'okulya, N'agabira abawala be emirimu gyabwe.
16
Alowooza ennimiro n'agigula: Asimba olusuku olw'emizabbibu n'emikono gye.
17
Anyiikira okukola n'amaanyi, Ng'akozesa emikono gye.
18
Alaba omugaso gw'ebyo by'akola, Ettaala ye tezikira kiro.
19
Yeerangira ewuzi ze, ye yennyini n'aluka engoye ze.
20
Wa kisa eri abaavu, Era ayamba abali mu bwetaavu.
21
Obudde obunnyogovu tabutya, Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna abambaza ne babuguma.
22
Yeetungira engoye ennungi; Ayambala ziri ezinnyirira eza siriki.
23
Bba amanyibwa mu miryango, Bw'atuula mu bakadde ab'ensi.
24
Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda; Akola n'enkoba n'aziguza omusuubuzi azeetaaga.
25
Wa maanyi era wa kitiibwa, Teyeralikirira biseera bya mu maaso.
26
Ayogera n'amagezi; Era ayigiriza n'ekisa.
27
Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye, Era si mugayaavu.
28
Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti,
29
Abakazi bangi abakola eby'okwegendereza, Naye ggwe obasinga bonna.
30
Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa; Naye omukazi atya Mukama y'anaatenderezebwanga.
31
Mumuwenga kw'ebyo by'akoleredde; Atenderezebwenga mu miryango.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31