bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 28
Proverbs 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
1
Ababi badduka nga tewali muntu abagoba; Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma.
2
Ensi etegwamu butabanguko ebaamu abafuzi bangi; Naye bwe beeramu abantu abalina okutegeera n'okumanya etebenkera.
3
Omuntu anyigiriza abaavu, Alinga enkuba esaanyaawo mmere yonna.
4
Abo abatakwata mateeka bawagira ababi: Naye abo abagakwata babalwanyisa.
5
Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.
6
Omwavu atatambulira mu bukuusa, Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.
7
Omwana akwata amateeka wa magezi; Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu aswaza kitaawe.
8
Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.
9
Agaana okuwulira amateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo.
10
Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abaatuukirira balisikira ebirungi.
11
Omugagga alowooza nti wa magezi; Naye omwavu alina okutegeera amukebera.
12
Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka.
13
Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa.
14
Alina omukisa omuntu atya Mukama mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.
15
Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu eryetala okutaagula; Bw'abeera bw'atyo omufuzi omubi afuga abantu abaavu.
16
Omufuzi atalina kutegeera aba mukambwe nnyo; Naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi.
17
Omuntu omutemu Asaana kubungeeta okutuusa lwalifa; era walemenga kubaawo muntu amuyamba.
18
Buli atambulira mu bugolokofu aliwonyezebwa; Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.
19
Omulimi omunyiikivu, aliba n'emmere nnyingi; Naye ayita n'abagayaavu, anaabeeranga mwavu.
20
Omuntu omwesigwa alifuna emikisa; Naye abuguutanira okugaggawala talirema kubonerezebwa.
21
Okusosola mu bantu si kulungi: Naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya.
22
Alina eriiso ebbi abuguutanira okugaggawala, Sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako.
23
Agolola munne ensobi, oluvannyuma aliganja, Okusinga oyo amuwaanawaana.
24
Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Afaanana n'omutemu.
25
Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama anaabanga n'omukisa.
26
Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru Naye atambula n'amagezi y'aliwonyezebwa.
27
Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye oyo abalaba n'atabafaako, alikolimirwa bangi.
28
Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31