bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 20
Proverbs 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
1
Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli agwettanira talina magezi.
2
Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma. Amusunguwaza akosa obulamu bwe yekka.
3
Kya kitiibwa okwewala ennyombo, Naye omusiru yayagala okuyomba.
4
Omugayaavu atayagala kulima mu nkuba ya ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.
5
Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi agali mu luzzi oluwanvu; Omutetenkanya, y'agasenayo.
6
Abantu bangi abeeyita ab'ekisa; Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba?
7
Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa.
8
Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Apima n'azuula ekirungi n'ekibi.
9
Ani ayinza okwogera nti, “Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu, sirina kibi kyonna?”
10
Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama.
11
Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
12
Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Byombi Mukama ye yabikola.
13
Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Vvanga mu tulo, ofunenga emmere gy'olya.
14
“Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa,” bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugula n'alyoka yeewaana.
15
Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'ogera eby'amagezi kya buyonjo eky'omuwendo omungi.
16
Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.
17
Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.
18
Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era lwananga olutalo ng'okulemberwa amagezi.
19
Abungeesa eŋŋambo, takuuma byama, Kale tomwesemberezanga oyo ali bwatyo.
20
Akolimira kitaawe oba nnyina, Aliba ng'ettaala ezikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.
21
Bw'ofuna by'otosoose kuteganira, Ku nkomerero tebiba na mukisa.
22
Tewewereranga kuwoolera ggwanga, Olekanga Mukama n'akulwanirira.
23
Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi.
24
Mukama yafuga okutambula kw'omuntu; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?
25
Kuba kwesuula mu mutego, okwanguyiriza okusuubiza Mukama ekintu; N'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama.
26
Kabaka ow'amagezi azuula abakola obubi, N'ababonereza n'obukambwe.
27
Omwoyo gw'omuntu ye ttaala ya Mukama, Emulisa byonna eby'omunda.
28
Ekisa n'amazima biwanirira kabaka; N'okusaasira kwe kunyweza entebe ye.
29
Ekyenyumirizisa abavubuka, maanyi gaabwe; N'omutwe ogw'envi, bwe bulungi bw'abakadde.
30
Emiggo egiruma gigolola ow'empisa embi; N'okuswanyulwa, kuggyamu emize.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31