bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 22
Proverbs 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
1
Okulondawo erinnya eddungi, kusinga bugagga obungi. Okuganja n'okwagalibwa kusinga okuba ne ffeeza ne zaabu.
2
Omugagga n'omwavu balina ekibagatta, Ye Mukama, bonna eyabatonda.
3
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; Naye abatalina magezi bagenda bugenzi ne bakagwamu.
4
Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.
5
Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ery'omubambaavu: Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala.
6
Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
7
Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola.
8
Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo.
9
Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye.
10
Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Empaka n'okuswala birikoma.
11
Ayagala omutima omulongoofu, n'okwogera eby'ekisa, afuuka mukwano gwa kabaka.
12
Mukama yeekaliriza okulaba ng'amazima gakuumibwa; Naye azikiriza enkwe z'abalimba.
13
Omugayaavu ayogera nti, “Empologoma eri bweru, Ejja kunzitira mu nguudo.”
14
Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu: Mukama gw'asunguwalidde aligwa omwo.
15
Kya butonde omwana omuto okukola eby'obusirusiru; Naye okubonerezebwa, kubimuggyamu.
16
Anyigiriza omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga, tebalirema kwavuwala.
17
Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.
18
Kiba kirungi, singa osobola okubijjukira, Era n'obijulizanga.
19
Njagala oyige okwesiganga Mukama, Kyenvudde mbikumanyisa ggwe leero.
20
Nkuwandiikidde ebigambo asatu (30), Ebirimu okulabula n'okumanya.
21
Okukutegeeza ebituufu era eby'amazima; Olyoke osobole okuddamu abo abaakutuma.
22
Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, Era tonyigirizanga mwavu awasalirwa omusango.
23
Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.
24
Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi:
25
si kulwa ng'oyiga emize gye, Ate n'olemwa okugivaamu.
26
Tobanga omu ku abo abeeyama, Okusasula amabanja ga balala.
27
Bw'olemwa okugasasula, Batwala n'ekitanda ky'osulako.
28
Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba.
29
Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso g'abakopi.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31