bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 24
Proverbs 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
1
Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga kubeera nabo.
2
Kubanga balowooza bya bukambwe, Era boogera bya ttima.
3
Kyetaagisa amagezi okuzimba ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza:
4
N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.
5
Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya abeera n'obuyinza.
6
Kubanga okulwana olutalo, kwetaaga okuteesa okw'amagezi; Era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe.
7
Amagezi magulumivu nnyo, gasukiridde omusiru, Tayinza kwogerera we basalira emisango.
8
Ateekateeka okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima.
9
Okulowooza kw'omusiru kuba kwonoona, Era omunyoomi abantu bamwetamwa.
10
Bw'ozirikira ku lunaku lw'ofuniddeko ebizibu, Amaanyi go gaba matono.
11
Yamba abo abatwalibwa okuttibwa, Obawonye, baleme okutirimbulwa.
12
Bw'onooyogeranga nti, “Ekyo ssaakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma emmeeme yo takumanyi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?
13
Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byagwo nga bwe bikuwoomera.
14
Manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo. Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja, By'osuubira birituukirira.
15
Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu:
16
Kubanga omuntu omutuukirivu ne bw'agwa emirundi musanvu ayimukawo nate; Naye ababi obuyinike bubasuula.
17
Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga:
18
Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'alekera okumusunguwalira.
19
Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; Era tobakwatirwanga buggya.
20
Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettaala y'ababi erizikizibwa.
21
Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: Era teweetabanga n'abo abaagala okujeema.
22
Kubanga obuyinike bulibajjira nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi bwe kulyenkana?
23
Era na bino byayogerwa abo ab'amagezi. Okusosola mu bantu ng'osala emisango si kirungi.
24
Agamba omubi nti, “ Toliiko musango,” Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamukyawanga.
25
Naye abo abanenya asobeza banaafunanga essanyu, Era banaabeeranga n'omukisa.
26
Okuddamu obulungi, Kabonero k'omukwano.
27
Sooka oteeketeeke bulungi emirimu gyo egy'ebweru, Otereeze bulungi ennimiro yo, Oluvannyuma olyoke ozimbe ennyumba yo.
28
Tolumirizanga munno awatali nsonga: Era toyogeranga bya bulimba.
29
Toyogeranga nti, “Ndimukola nga ye bw'ankoze, Ndisasula omusajja oyo nga bw'ankoze”
30
N'ayita ku nnimiro ey'omugayaavu, Ne mu lusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera;
31
Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omuddo nga guduumuukidde omwo, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lugudde.
32
Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Ne mbaako kye njiga nti:
33
Oba oyagala, weebakeko katono, sumagira weebakeko, Zinga emikono, owummuleko!
34
Naye obwavu n'obwetaavu, Birikulumba ng'omunyazi era ng'omusajja akutte eby'okulwanyisa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31