bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 8
Proverbs 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
1
Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleekaana okuwulirwa?
2
Ku butunnumba okumpi n'ekkubo, Mu masaŋŋanzira g'enguudo.
3
Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Galeekaanira ku nzigi abantu we bayingirira.
4
“Mmwe abantu, mbakoowoola, Mbayita mwenna abaana b'abantu.
5
Mmwe abatalina magezi, muyige okwegendereza. Nammwe abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera.
6
Muwulire, kubanga njogera ebigambo ebirungi ennyo. Byonna bye njogera bya nsonga.
7
Kubanga bye njogera bya mazima, Soogera bya bulimba nakatono.
8
Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kikyamu wadde ekikyukakyuka.
9
Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri oyo ayagala okumanya.
10
Mwagale bye njigiriza okusinga ffeeza, Era mwagale okumanya okusinga zaabu ow'omuwendo.
11
Kubanga amagezi gasinga amayinja ag'omuwendo, Tewali na kintu kyegombebwa ky'oyinza okugeraageranya nago.
12
Nze magezi, nsangibwa mu bwegendereza. Era nnoonya okumanya n'okuteesa.
13
Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Nkyawa amalala n'okwepanka, N'okwogera eby'obulimba.
14
Mbuulirira era nnina amagezi amatuufu. Nnina okutegeera, nnina amaanyi.
15
Nnyamba bakabaka okufuga, N'abafuzi okulagira eby'obwenkanya.
16
Nnyamba abalangira okufuga, N'abakungu, n'abalamuzi bonna ab'oku nsi.
17
Njagala abo abanjagala; N'abo abanyiikira okunnoonya balindaba.
18
Obugagga n'ekitiibwa biri nange; Obugagga obutuufu era obw'enkalakkalira.
19
Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, Zaabu ow'omuwendo, N'amagoba gange gasinga ffeeza omuyooyoote.
20
Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, N'ekkubo ery'obwenkanya.
21
Abanjagala mbawa obugagga, Ne njijuza amawanika gaabwe.
22
Mukama yantonda ku ntandikwa ye mirimu gye, Omubereberye w'omulimu gwe ogw'edda.
23
Nnateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo.
24
Najja tewannabaawo nnyanja, wadde ensulo ezireeta amazzi.
25
Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, N'obusozi nze nnabusookawo.
26
Katonda yali tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Wadde enfuufu embereberye ey'ensi.
27
Bwe yali abamba eggulu, nnaliwo, Bwe yali assaawo enkulungo mu buziba bwe nnyanja.
28
Bwe yawanika ebire mu bbanga, N'assaawo ensulo ez'ennyanja.
29
Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okubuuka ensalo zaayo, Bwe yalamba emisingi gy'ensi:
30
Kale nze nnamuli ku lusegere ng'omukoza. Era bulijjo yansanyukiranga, Nga ndigitira waali.
31
Nga nsanyukira ensi ye n'ebigirimu, N'essanyu lyange kwe kubeera n'abaana b'abantu.
32
Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata bye mbagamba.
33
Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n'amagezi, So temugagaananga.
34
Alina omukisa omuntu ampulira, Abeera ku luggi lwange bulijjo, Ng'alindirira ku mulyango gw'enju yange,
35
Kubanga buli anzuula aba azudde obulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama.
36
Naye oyo alemwa okunzuula, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba baagala kufa.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31