bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 5
Proverbs 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 6 →
1
Mwana wange, ssangayo omwoyo, owulirize amagezi gange, Otegeere okumanya kwange.
2
Olyoke omanyenga okusalawo okw'amagezi, Era olyoke oyogerenga eby'amagezi.
3
Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu:
4
Naye kunkomerero akaawa ng'omususa, Asala ng'ekitala eky'obwogi obubiri.
5
Ebigere bye bikka mu kufa; Ekkubo lye likkirira magombe.
6
N'okulaba talaba kkubo lya bulamu, Amakubo ge geetooloola nga tamanyi.
7
Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo bye mbagamba.
8
Omukazi ng'oyo omwewalanga, N'oluggi lw'ennyumba ye tolusembereranga.
9
Bw'otomwewala, abalala balitwala ekitiibwa kyo, N'ottibwa abakambwe ng'okyali muvubuka.
10
Abagwira baleme okutwala by'okoleredde, Bye watuyanira bireme okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga;
11
Ku nkomerero yo n'ofa ng'onakuwadde, Ng'okozze wenna, ng'okenenye.
12
Olyejjusa lwaki wakyawanga okubuulirirwa, Omutima gwo ne gunyoomanga okunenyezebwa.
13
Oligamba nti ssaawulirizanga bayigiriza bange, Sassangayo mwoyo ku bye banjigirizanga.
14
Nabulako katono okuswala, Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina.
15
Beeranga mwesigwa eri mukyala wo, Era gwewegattanga naye yekka.
16
Lwaki ensulo zo zisaasaanira wonna, Amazzi ne gakulukutira mu nguudo?
17
Amazzi ag'omu luzzi olwo gabeereranga ddala gago wekka, So si ga balala wamu naawe.
18
Ensulo yo ebeerenga n'omukisa, Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.
19
omulungi ng'ennangaazi, omubalagavu ng'empeewo, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.
20
Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omwenzi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
21
Kubanga omuntu byonna by'akola biri mu maaso ga Mukama, Era Mukama atunulira nnyo eŋŋendo ze zonna.
22
Ebibi by'omuntu bimusiba, Okwonoona kwe gy'emigwa egimusiba.
23
Alifa olw'obuteeziyiza, Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31