bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 29
Proverbs 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
1
Omuntu bw'anenyezebwa emirundi emingi n'akakanyalira mu nsobi ye; Alimenyeka nga tamanyiridde nga takyayinza kuwonyezebwa.
2
Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda.
3
Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye.
4
Kabaka anyweza ensi lwa bwenkanya; Naye asaba enguzi agisuula.
5
Omuntu awaanawaana munne Aba amutega kitimba.
6
Omuntu omubi, akwatirwa mu nsobi ze; Naye omutuukirivu asanyuka n'ayimba.
7
Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya.
8
Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakkakkanya obusungu.
9
Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, Omusiru ne bw'asunguwala oba ne bw'aseka, tewaba mirembe.
10
Abantu abatemu, bakyawa atalina musango; Naye omutuukirivu afuba okutaasa obulamu bwe.
11
Omusiru alaga obusungu bwe bwonna; Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya.
12
Omufuzi bw'awuliriza eby'obulimba, Abakungu be bonna baba babi.
13
Omwavu n'omujoozi balina ekibagatta: Bombi Mukama y'abawa ekitangaala ne balaba.
14
Kabaka asalira abaavu emisango mu bwenkanya, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
15
Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana alekebwa awo, aswaza nnyina.
16
Ababi bwe baba mu buyinza, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
17
Kangavvulanga omwana wo, anaakuleeteranga okuwulira essanyu, Weewaawo, anaakweyagazanga.
18
Awatali kwolesebwa, abantu tebaba na kuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa.
19
Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
20
Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusiru wandibaako k'omusuubiramu.
21
Alera omuddu we nga yeegendereza okuva mu buto, Alimufuukira omwana ku nkomerero.
22
Omuntu ow'obusungu awakula ennyombo, N'ow'ekiruyi agwa mu nsobi nnyingi.
23
Amalala g'omuntu galimusuula, Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24
Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Ne bwawulira ekikolimo, takwekula mazima.
25
Oyo atya obuti abantu, yeesuula mu kabi; Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26
Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye obwenkanya buva eri Mukama.
27
Omuntu omubi akyayibwa abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu akyayibwa ababi.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31