bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 16
Proverbs 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
1
Omuntu ateekateeka by'anaakola; Naye Mukama y'asalawo eky'enkomerero.
2
Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo.
3
Emirimu gyo gikwasenga Mukama, By'otegese lwe binaatuukirizibwanga.
4
Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku.
5
Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Taliwona nakatono kubonerezebwa.
6
Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
7
Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Amukyusiza abalabe, okuba mikwano gye.
8
Okufuna akatono mu mazima, Kisinga okufuna ebingi, mu bukumpanya.
9
Omuntu y'ateekateeka by'anaakola; Naye Mukama yabiruŋŋamya okutuukirira.
10
Kabaka aluŋŋamizibwa mu by'ayogera; Natasobya bwaba nga alamula omusango.
11
Ebigera n'eminzaani ebituufu Mukama by'ayagala; Ebipimibwa byonna bibeere mu mazima.
12
Kibi bakabaka okukola ebibi; Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza okufuga kwe.
13
Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'amazima.
14
Kabaka bw'asunguwala ayinza okutta; Naye omuntu ow'amagezi amuwooyawooya mangu.
15
Okusanyuka kwa kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kulinga enkuba ya ttoggo.
16
Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza.
17
Abantu abagolokofu beewala okukola obubi; N'oyo eyeegendereza mu mpisa ze awonya emmeeme ye.
18
Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19
Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agabana omunyago wamu n'ab'amalala.
20
Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa.
21
Omuntu ow'amagezi, gwe bayita omutegeevu; Ow'ebigambo ebinyunyuntuvu, ayanguwa okusikiriza abantu.
22
Eri omutegeevu, amagezi bwe bulamu; Naye okubuulirira omusiru, kumala biseera.
23
Ow'amagezi ayogera bizimba, Ebisikiriza abantu.
24
Ebigambo ebisanyusa biringa mubisi gwa njuki okuwooma; Bizzaamu amaanyi, era bireeta obulamu.
25
Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye ku nkomerero limutwala mu kufa.
26
Obwetaavu buleetera omuntu okukola; Alyoke afune ky'anaalya.
27
Omuntu ataliiko ky'agasa agunja obubi; Era by'ayogera bibalagala nga ayokeddwa omuliro.
28
Omuntu omubambaavu aleeta ennyombo; N'omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo.
29
Omuntu ow'effujo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi.
30
Atta ku liiso, ateesa bya bulimba; Aluma emimwa atuukiriza obubi.
31
Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa, efunibwa oyo akola eby'obutuukirivu.
32
Alwawo okusunguwala asinga omuzira nnamige; Eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga.
33
Akalulu kasuulibwa okulaba ekivaamu; Naye Mukama yasalawo ekivaamu.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31