bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 7
Proverbs 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
1
Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Teweerabiranga biragiro byange.
2
Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu. Kuumanga bye nkuyigiriza ng'emmunye ey'eriiso lyo.
3
Bisibenga ku mukono gwo, Biwandiikenga mu mutima gwo.
4
Gambanga amagezi nti, “Ggwe mwannyinaze,” Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe.
5
Birikukuuma eri omukazi muk'omusajja, N'eri buli mukazi asikiriza n'ebigambo bye ebiwoomerevu.
6
Kubanga lumu nnalingiza, Mu ddirisa ery'omu nnyumba yange,
7
Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Mwe nalabira omuvubuka atalina kutegeera.
8
Yali atambula mu luguudo n'atuuka mu kakoona akaali okumpi n'ennyumba y'omwenzi, N'akwata ekkubo eridda mu nnyumba y'omwenzi.
9
Bwali obudde nga buwungedde, Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi.
10
Omukazi n'amusisinkana, Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya.
11
Muyombi era mukakanyavu; Nga tatereera waka,
12
Oluusi ateegera mu nguudo, oluusi mu bifo ebyalukale, Era ateegera ku buli mugguukiriro.
13
Awo n'agwa omuvubuka mu kifuba, n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti:
14
“Mpaddeyo ssaddaaka, Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.
15
Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, nfubye okukunoonya era nkulabye.
16
Obuliri bwange maze okubwala, N'essuuka ez'ebikuubo eza ppamba w'e Misiri.
17
Obuliri mbutaddemu ebyakawoowo, Eby'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa ebirala.
18
Jjangu tusule ffembi okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala.
19
Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala:
20
Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo. Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.”
21
Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda naye olw'ebigambo bye ebiwoomerevu.
22
Amangu ago amugoberera, Ng'ente gye batwala okusala, Oba ng'ensolo egwa mu mutego.
23
Mw'eneefumitirwa akasaale efe. Yali ng'ekinyonyi ekyanguwa okugwa mu kitimba. Yali tamanyi nti afiirwa obulamu bwe.
24
Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo bye mbagamba.
25
Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze.
26
Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Abafiiridde ewuwe tobabala n'obamalayo.
27
Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe Kuba kusemberera kufa.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31