bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 15
Proverbs 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
1
Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi; Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu.
2
Ab'amagezi boogera, ebisaana; Naye abasiru boogera bya busirusiru.
3
Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi.
4
Okwogera eby'ekisa, kuleeta obulamu; Naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima.
5
Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye omutegeevu, akkiriza okunenyezebwa.
6
Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.
7
Ab'amagezi bye boogera bibunyisa okumanya; Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.
8
Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira.
9
Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.
10
Ava mu kkubo ettuufu, wa kukangavvulwa nnyo. Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11
Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale kiki ky'atamanyi mu mitima gy'abantu?
12
Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Era tayagala kwebuuza ku ba magezi.
13
Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya; Naye obuyinike obw'omutima bwennyamiza omuntu.
14
Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye abasiru, basanyukira mu butamanya bwabwe.
15
Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo omusanyufu, aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera.
16
Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga obungi obuliko obuyinike.
17
Amaluma awali okwagalana Gasinga okulya ebisava, awali okukyawagana.
18
Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.
19
Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo.
20
Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21
Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera atambulira mu butuukirivu.
22
Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa; Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama.
23
Okuddamu ekituufu, kusanyusa omuntu. N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi!
24
Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, Ne beewala eriserengeta mu kufa.
25
Mukama alisuula ennyumba ey'ab'amalala; Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.
26
Mukama tayagala birowoozo bya muntu mubi, Naye asanyukira ebigambo by'omulongoofu.
27
Ayaayaanira amagoba ag'obukumpanya, aleetera amaka ge emitawaana; Naye akyawa enguzi, y'aliba omuwangaazi.
28
Omuntu omutuukirivu, amala kulowooza nga tanaba kwanukula; Naye omubi ayogera ebitasaana.
29
Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu.
30
Okutunuza essanyu, kisanyusa omutima; N'ebigambo ebirungi bireetera omuntu okweyagala.
31
Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi.
32
Agaana okubuulirirwa yeefiiriza yekka. Naye oyo akkiriza okunenyezebwa, afuna okutegeera.
33
Okutya Mukama, kuyigiriza omuntu amagezi; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31