bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 3
Proverbs 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
1
Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza, Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange.
2
Kubanga oliwangaala emyaka mingi, N'obeeranga mu bulamu obw'emirembe.
3
Tosulanga bwesigwa n'amazima. Bisibenga mu bulago bwo, Biwandiikenga munda mu mutima gwo.
4
Bw'otyo bw'onoofunanga okuganja n'okusiimibwa, Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
5
Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.
6
Mwatulenga mu makubo go gonna, Naye anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
7
Teweefuulanga mugezi mu maaso go ggwe, Tyanga Mukama, era ovenga mu bubi.
8
Ekyo kye kinaabanga eddagala eriwonya ebiwundu byo, Era erikkakkanya okuluma kw'amagumba go.
9
Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna.
10
Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
11
Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama, So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya.
12
Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala.
13
Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera.
14
Kubanga ga muwendo okusinga ffeeza N'amagoba gaago gasinga zaabu ennungi.
15
Ga muwendo mungi okusinga amayinja ag'omuwendo. Era tewali kintu ky'oyinza okwegomba okugeraageranya nago.
16
Amagezi gakuwangaaza, ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa.
17
Amagezi gakuwa obulamu obweyagaza, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe.
18
Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
19
Mukama mu magezi mwe yatondera ensi, mu kutegeera mwe yassizzaawo eggulu.
20
Mu kumanya kwe amazzi gafubutuka okuva wansi, Ne bire ne bitonya enkuba.
21
Mwana wange, weekwatenga amagezi amatuufu, N'okusalawo okulungi,
22
Ebyo birikuwa obulamu, N'ebirongoosa embeera zo.
23
Olwo olitambula mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala.
24
Bw'onoogalamiranga okwebaka tootyenga, Oneebakanga otulo ne tukuwoomera.
25
Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Wadde okuzikirira kw'ababi bwe kujjanga.
26
Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa.
27
Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kibanga mu buyinza bwo okukikola.
28
Togambanga muliraanwa wo nti, “ Genda okomewo, Nakuwa enkya,” Bw'obanga eky'okumuwa okirina.
29
Totegekanga kukola munno kabi, Ng'ali naawe mirembe.
30
Toyombanga na muntu awatali nsonga, Nga taliiko kabi k'akukoze.
31
Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, Era tosalangawo kukola nga ye by'akola,
32
Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye abalongoofu abamanyisa ekyama kye.
33
Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.
34
Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaze ekisa.
35
Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye abasiru balifuna okuswazibwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31