bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 4
Proverbs 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
1
Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Musseeyo omwoyo, mulyoke mufune okutegeera:
2
Kubanga bye mbayigiriza birungi. Temuvanga mw'ebyo bye mbayigiriza.
3
Bwe nali nkyali mulenzi muto, Nali muganzi ewa kitange ne mmange.
4
Era kitange yanjigirizanga n'aŋŋamba nti: “Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:
5
Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo bye nkugamba.
6
Amagezi togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulabiriranga.
7
Amagezi kye kintu ekisinga obukulu. kale funa amagezi: Mu byonna by'ofuna, beeranga n'okutegeera.
8
Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga.
9
Galikutikkira engule ey'ebimuli, Engule ennungi.”
10
Ayi mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; Olwo lw'oliwangaala emyaka emingi.
11
Nkuyigirizza ekkubo ery'amagezi, Nkulaze amakubo ag'obugolokofu.
12
Tewali kinakuziyizanga ng'otambula, Era bw'onoddukanga teweesittalenga.
13
Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
14
Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.
15
Olwesambanga, toluyitangamu. Lwewalenga, ggwe okwate olulwo ogende.
16
Kubanga tebeebaka nga tebamaze kukola kabi. otulo tebatufuna, nga tebalina gwe basudde mu kabi.
17
Kubanga bawoomerwa okukola ebibi, Nga bwe bawoomerwa emmere n'omwenge.
18
Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋaanga akasana k'enjuba evaayo, Akagenda keyongera okwaka okutuuka mu ttuntu.
19
Ekkubo ery'ababi liriŋŋaanga ekizikiza ekikute, Beesittala ne bagwa, nga tebamanyi kye beesittaaddeko.
20
Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Wuliriza bulungi bye nkugamba.
21
Tebivanga ku maaso go, Bikuumirenga mu mutima gwo.
22
Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era biwonya omubiri gwabwe gwonna endwadde.
23
Weegenderezenga by'olowooza, Kubanga obulamu bwo, bufugibwa ebyo by'olowooza.
24
Toyogeranga bya bulimba, Weewalenga okwogera eby'ensonyi.
25
Tunula nga wetegerereza ddala gy'olaga, Tomagamaga
26
Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga.
27
Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Tambuliranga mu bugolokofu, weewalenga okukola obubi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31