bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 30
Proverbs 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
1
Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; bye yayogera. Omusajja agamba Isyeri ne Ukali;
2
Nti Mazima ndi muntu asingayo obusiru, So sirina kutegeera kwa muntu:
3
So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu.
4
Ani eyali alinnye mu ggulu ate n'avaayo n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi Erinnya lye y'ani, n'omwana we erinnya lye y'ani, oba ng'omanyi?
5
Buli kigambo kya Katonda kituukirizibwa, Aba ngabo eri abo abamwesiga.
6
Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba.
7
Nkusabye ebigambo bibiri; Obimpe nga sinnafa:
8
Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Naye ompenga emmere gye nneetaaga.
9
Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama y'ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne nvumaganya erinnya lyo, ayi Katonda wange.
10
Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango.
11
Waliwo abantu abakolimira bakitaabwe, So tebasabira bannyaabwe mukisa.
12
Waliwo abantu abalowooza nti balongoofu; Era naye nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13
Waliwo abantu, abalowooza nti bo ba waggulu nnyo, Era ne balowooza nti be basinga abalala bonna.
14
Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.
15
Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
16
Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi enkalu; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo.
17
Amaaso g'oyo anyooma kitaawe, N'agooyo agaana okuwulira nnyina, Gasaanye gaggyibwemu bi Nnamuŋŋoona eby'omu kiwonvu, Era gabojjogolwe ensega.
18
Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebyannema okutegeera, Weewaawo, biri bina bye ssimanyi:
19
Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; Omukwano gw'omusajja n'omuwala.
20
Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Olumala okwenda, anaaba neyewoomya, Olwo n'agamba nti, “Siriiko kibi kye nkoze.”
21
Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza:
22
Omuddu bw'aba kabaka; N'omusiru bw'akkuta emmere;
23
Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we.
24
Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:
25
Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi, Naye byeterekera emmere yabyo mu kyeya.
26
Obumyu busolo bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja.
27
Enzige tezirina kabaka, Naye zibuukira mu bibinja.
28
Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mbiri za bakabaka.
29
Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:
30
Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna;
31
Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka ali n'eggye lye.
32
Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Osirikanga n'olowooza;
33
Kubanga okusunda amata nga bwe kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo nga bwe kuleeta omusaayi: N'okusitula obusungu, bwe kutyo kuleeta oluyombo.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31