bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 25
Proverbs 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
1
Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika.
2
Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda: Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka.
3
Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. Ne kabaka by'alowooza bizibu okumanya.
4
Ggyangamu amasengere mu ffeeza, Omuweesi anaakuweesezamu ekintu.
5
Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka, N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu.
6
Teweekuza mu maaso ga kabaka, Era teweeteekanga mu kifo ky'abakulu.
7
Kiba kirungi okukuyita nti, “Sembera eno,” Okusinga okutoowazibwa mu maaso g'omulangira, Amaaso go gwe galabye.
8
Toyanguyirizanga kuwaaba, Ku nkomerero oyinza okubulwa eky'okwogera, Munno ng'akuswazizza.
9
Wozanga ensonga yo ne munno yennyini, So tobikkulanga kyama kya munno.
10
Akiwulira alemenga okukusunga, N'osigala ng'oswadde.
11
Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.
12
Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'eky'obuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda.
13
Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,
14
Ng'ebire n'empewo awatali nkuba, Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba.
15
Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, N'olulimi olugonvu lumenya eggumba.
16
Olabye omubisi gw'enjuki? Lyangako ogunaakumala obumazi; Olemenga okugukkuta n'ogusesema.
17
Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno; Alemenga okukunyiwa n'akukyawa.
18
Omuntu awaayiriza munne Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi.
19
Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku Kuli ng'erinnyo erimenyese n'okugulu okusowose.
20
Okuyimbira omuntu ali mu nnaku, kuba ng'omuntu okweyambulamu engoye, mu budde obw'empewo, Oba okusiiga omunnyo mu kiwundu.
21
Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere ey'okulya; Era bw'alumwanga ennyonta omuwanga amazzi okunywa:
22
Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe, Era Mukama alikuwa empeera.
23
Okugeya kuleeta obusungu, Ng'embuyaga ez'obukiikakkono, bwe zireeta enkuba.
24
Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, N'otaba na mukazi muyombi mu nnyumba engazi.
25
Okuwulira amawulire amalungi agava mu nsi ey'ewala, Kuli ng'okunywa amazzi amannyogovu ng'obadde olumwa ennyonta.
26
Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese, Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bweyekkiriranya n'omubi.
27
Nga bwe kitali kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya ekitiibwa.
28
Omuntu atasobola kweziyiza; Ali ng'ekibuga ekirumbiddwa nga tekiriiko bbugwe.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31