bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 14
Proverbs 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
1
Omukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye, Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye.
2
Atambulira mu bugolokofu y'atya Mukama; Naye atali mwesimbu, aba anyooma Mukama.
3
Omusiru by'ayogera, gwe muggo ogumukuba; Naye ebigambo by'ow'amagezi, bimukuuma.
4
Atalina nte zirima, taba na mmere; Naye azirina, aba n'emmere nnyingi.
5
Omujulirwa omwesigwa talimba: Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza.
6
Omunyoomi, anoonya amagezi n'atagafuna; Naye omutegeevu, ayiga mangu.
7
Vva awali omusiru, Talina bigambo by'amagezi bya kugamba.
8
Amagezi g'omutegeevu, gamumanyisa eky'okukola; Naye abasiru obusirusiru bwabwe bubalimbalimba.
9
Abasiru tebafaayo bwe bazza omusango; Naye abagolokofu bafuna ekisa kya Mukama.
10
Omutima gumanya okulumwa kwagwo; So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo.
11
Ennyumba ey'ababi erisuulibwa: Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa.
12
Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye kunkomerero, nga limutwala mu kufa.
13
Ne mu kuseka omutima gunakuwala; N'essanyu liyinza okuvaamu obuyinike.
14
Omuntu omubi alifuna ekimugwanira; N'omuntu omulungi aliweebwa empeera egwanira ebikolwa bye.
15
Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: Naye omuntu omutegeevu, amala kwetegereza.
16
Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusiru aba n'ettitimbuli, amala gakola.
17
Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru: N'omuntu asalira banne enkwe, akyayibwa.
18
Abasiru baba babuyabuya; Naye abategeevu bamanya bingi.
19
Ababi balivunnamira abalungi; N'aboonoonyi balyegayiririra ku miryango gy'abatuukirivu.
20
Omwavu ne mikwano gye gimukyawa; Naye omugagga aba n'emikwano mingi.
21
Anyooma munne ayonoona: Naye asaasira abaavu alina omukisa.
22
Abateesa okukola obubi bawaba; Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga n'abo abateesa okukola obulungi.
23
Okubaako omulimu gw'okola, kigasa; Naye okwogera obwogezi kwavuwaza bwavuwaza.
24
Ab'amagezi bagaggawala; Naye ababuyabuya, basiruwala.
25
Omujulirwa ow'amazima awonya obulamu bw'omuntu; Naye aleeta eby'obulimba abulyamu olukwe.
26
Okutya Mukama kugumya nnyo omuntu; Era kukuuma abaana be.
27
Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Era kuwonya omuntu okufa.
28
Obungi bwa abantu kye kitiibwa kya kabaka; Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira.
29
Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: Naye asunguwala amangu, akola n'ebitajja nsa.
30
Emirembe mu mutima, bwe bulamu bw'omubiri; Naye obuggya, bugulya nga kookolo.
31
Ajooga omwavu, anyiiza Omutonzi we; Naye asaasira oyo eyeetaaga, amussaamu ekitiibwa.
32
Omubi azikirizibwa kwonoona kwe; Naye omutuukirivu afa alina essuubi.
33
Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera: Naye ekiri mu mitima gy'abasiru, kimanyiddwa.
34
Obutuukirivu bugulumiza eggwanga: Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna.
35
Omuddu akola eby'amagezi y'aganja eri kabaka: Naye asunguwalira oyo akola ebiswaza.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31