bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 17
Proverbs 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
1
Akamere akaluma kolya ng'olina emirembe, Kakira embaga gy'olira mu nnyumba omuli okuyomba.
2
Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akola ebitasaana. Era aliba n'omugabo ogw'obusika ng'omu ku b'oluganda.
3
Entamu erongoosa ffeeza, n'emu kabiga mwe basanusiza zaabu; Naye Mukama y'ageza emitima.
4
Omukozi w'ebibi, assaayo omwoyo okuwuliriza emboozi embi; N'omulimba anyumirwa okuwuliriza ebigambo eby'ettima.
5
Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike bwa banne, talirema kubonerezebwa.
6
Abakadde basanyukira abazzukulu baabwe, N'abaana beenyumiririza mu bakitaabwe.
7
Okwogera eby'amakulu tekukolebwa musiru; N'omulangira tasaana kwogera by'abulimba.
8
Enguzi ebanga ejjinja ery'omuwendo eri oyo agiwa; N'emwesiguza nti enemukolera byonna byayagala.
9
Asonyiwa ekisobyo, anoonya okwagala; Naye ayeeyereza ekisobyo ayawukanya ab'omukwano ennyo.
10
Omuntu ategeera anenyezebwa lumu n'ayiga; Okusinga omusiru akubwa emiggo ekikumi (100).
11
Omuntu omubi buli kiseera ajeema; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.
12
Waakiri omuntu asisinkane eddubu ennyagiddwako abaana baayo; Okusinga okusisinkana omusiru ng'akola eby'obusiru bye.
13
Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye.
14
Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana, waleme okubalukawo oluyombo.
15
Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama.
16
Lwaki omusiru awaayo sente ze okufuna amagezi, Nga talina kutegeera?
17
Ow'omukwano aba n'okwagala ekiseera kyonna; Era ow'oluganda abaawo okuyamba mu buyinike.
18
Omuntu omusiru awa obweyamo; okutekerawo munne akabega.
19
Ayagala okuyomba ayagala okusobya: N'oyo eyeegulumiza anoonya okuzikirira.
20
Alina omutima omubambaavu talifuna birungi; N'oyo ayogera obubi, aligwa mu katyabaga.
21
Azaala omusiru yeereetera obuyinike; Era kitaawe w'omusiru talina ssanyu.
22
Okusanyuka ddagala eriwonya; Naye okunakuwala, kukozza omubiri.
23
Omuntu omubi akkiriza okutwala enguzi; Alyoke akyamye ensala y'omusango.
24
Omuntu omutegeevu ategeka okukola eby'amagezi; Naye omusiru, amala gatandika kino na kiri.
25
Omwana omusiru anakuwaza kitaawe, Era aleetera nnyina obulumi.
26
Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe,
27
Omutegeevu yeefuga mu kwogera; N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu.
28
Omusiru bw'asirika bamuyita wa magezi; Bw'abunira bamulowooza nga omutegeevu.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31