bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 27
Proverbs 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
1
Teweenyumirizanga lwa bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba ku lunaku olwo.
2
Leka omulala akutenderezenga, Oba omugenyi, so si ggwe kwetendereza.
3
Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye emitawaana egireetebwa omusiru, gibisinga byombi obuzito.
4
Obusungu bukambwe, n'ekiruyi kizikiriza; Naye tebyenkana buggya.
5
Akubuulira ensobi yo mu lwatu Akira agikukweka ng'ayagala okukulaga nti akwagala.
6
Weesige mukwano gwo akunenya, Naye sso si mulabe wo akuwaana.
7
Emmeeme ekkuse etamwa omubisi gw'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.
8
Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.
9
Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okwo mu mwoyo gwe.
10
Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.
11
Mwana wange, beeranga n'amagezi onsanyusenga; Ndyokenga nfune kye nziramu oyo anvuma.
12
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja n'akeewala; Naye atalina magezi, akatambaala, ate neyejjusa oluvannyuma.
13
Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.
14
Azuukuka ku makya ennyo n'aleekaana okulamusa munne, Abalwa ng'amukolimira.
15
Omukazi omuyombi, Alinga enkuba ennyingi, etonnya nga tekya.
16
Okumuziyiza kuba nga kuziyiza mpewo ekunta; Oba kiringa okukwata amafuta, mu mukono.
17
Ng'ekyuma bwe kiwagala kinnaakyo, Bw'atyo n'omuntu bw'ayigiriza muntu munne.
18
Buli alabirira omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we, anaassibwangamu ekitiibwa.
19
Ng'omuntu bwe yeeraba ng'atunudde mu mazzi, Bwe gutyo omutima gwe bwe gumwoleka bw'ali.
20
Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.
21
Entamu erongoosa ya ffeeza n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza.
22
Omusiru ne bw'omukuba okujula okumutta obussi, Obusiru bwe tebumuvaako.
23
Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo:
24
Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule tesikirwa mirembe gyonna.
25
Omuddo bwe gukala, n'omulala ne gumera, N'ogw'okunsozi ne gukuŋŋaanyizibwa,
26
Lw'olyekolera eby'okwambala, mu byoya by'endiga zo; N'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja.
27
Onoofunanga amata agakumala ggwe n'ab'omu nnyumba yo, Ne ganywebwako n'abakozi bo.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31