bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Proverbs 26
Proverbs 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
1
Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru.
2
Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.
3
Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru.
4
Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana.
5
Oddangamu omusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okulowooza nti wa magezi.
6
Atuma omusiru okutwala obubaka, Aba ng'eyeesalako ebigere, era yeereetera mitawaana.
7
Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu, Kiri ng'omulema okukozesa, Amagulu ge agaleebeeta obuleebeesi.
8
Ng'ensawo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusiru.
9
Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu, Kiri ng'omutamiivu okugezaako okwetundula eriggwa mu kibatu kye.
10
Ateekawo omusiru okumukolera omulimu, Oba buli muyise gw'asanze obusanzi, Aba ng'omulasi w'obusaale, alasa buli muntu.
11
Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.
12
Olaba omuntu eyeeyita omugezi mu kulowooza kwe ye? Omusiru amusinga.
13
Omugayaavu ayogera nti, “Waliwo empologoma mu kkubo, Empologoma eri mu nguudo.”
14
Ng'oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye.
15
Omugayaavu akoza emmere mu kibya; Ne kimukooya okugiteeka mu kamwa.
16
Omugayaavu alowooza nti mugezi okusinga abantu omusanvu, Aboogera batereeza ensonga.
17
Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako, Aliŋŋaanga akwata ku matu g'embwa gy'atamanyi;
18
Ali ng'omulalu akasuka amanda agaaka omuliro, Oba obusaale n'ebissi ebirala.
19
N'oyo omuntu alimba munne, N'agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi,” bw'atyo bw'aba.
20
Ng'okumalawo enku bwe kuzikiza omuliro, N'omugeyi bw'avaawo, okuyomba kuggwaawo.
21
Ng'amanda n'enku ebyongerwa mu kyoto, bwe bikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo.
22
Ebigambo by'ow'olugambo biwooma Ng'emmere ekka mu lubuto.
23
Ebigambo ebiwoomerevu ebiva mu mutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza.
24
Omuntu alina obukyayi akuusakuusa mu bigambo bye, Atereka obubi mu mutima gwe.
25
Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu:
26
Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina.
27
Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.
28
Omulimba akyawa abo baalimba; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31