bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 1
2 Kings 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 2 →
1
Kabaka Ahabu bwe yamala okukisa omukono, ensi ya Mowaabu n'ejeemera Yisirayeli.
2
Kabaka Ahaaziya owa Yisirayeli, n'awanuka ku lubalaza olwawaggulu, ku nnyumba ye eyaakalina mu lubiri lwe e Samariya, n'agwa wansi, n'alumizibwa nnyo. N'atuma ababaka, n'abagamba nti: “Mugende mwebuuze ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni, oba nga nnaawona ebisago bino.”
3
Naye malayika wa Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti: “Situka ogende osisinkane ababaka ba Kabaka w'e Samariya, obagambe nti: ‘Mugenda okwebuuza ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni kubanga tewali Katonda mu Yisirayeli?’
4
Kale nno mugambe Kabaka nti Mukama agamba nti: ‘Tojja kuva ku ndiri gy'oliko, Oli wa kufa.’ ” Eliya n'agenda.
5
Ababaka ne bakomawo eri Kabaka, n'ababuuza nti: “Kiki ekibakomezzaawo?”
6
Ne bamuddamu nti: “Omusajja azze n'atusisinkana, n'atugamba nti: ‘Muddeeyo eri Kabaka abatumye, mumugambe nti Mukama agamba nti otumye okwebuuza ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni kubanga tewali Katonda mu Yisirayeli? Kale nno tojja kuva ku ndiri gy'oliko. Oli wa kufa.’ ”
7
Kabaka n'ababuuza nti: “Omusajja azze okubasisinkana n'abagamba ebigambo ebyo abadde afaanana atya?”
8
Ne bamuddamu nti: “Abadde musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye.” Kabaka n'agamba nti: “Ye Eliya Omutisubi.”
9
Awo Kabaka n'atuma omukungu akulira abasajja amakumi ataano, ayambuke ne basajja be ataano, aleete Eliya. Omukungu oyo n'ayambuka, n'asanga Eliya ng'atudde ku ntikko y'olusozi, n'amugamba nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, Kabaka alagidde nti: ‘Wanukayo.’ ”
10
Eliya n'addamu omukungu oyo akulira abasajja ataano nti: “Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye gukutte ggwe ne basajja bo amakumi ataano.” Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ne gumutta, ye ne basajja be amakumi ataano.
11
Awo Kabaka n'atuma omukungu omulala akulira abasajja amakumi ataano ne basajja be amakumi ataano okuleeta Eliya. Omukungu oyo n'ayambuka, n'agamba Eliya nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, Kabaka alagidde nti: ‘Wanukayo mangu.’ ”
12
Eliya n'abaddamu nti: “Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye gukutte, ggwe ne basajja bo amakumi ataano.” Katonda n'asindika omuliro okuva mu ggulu, ne gwokya omukungu oyo ne gumutta, ne basajja be amakumi ataano.
13
Kabaka era n'atuma omukungu omulala ne basajja be amakumi ataano b'akulira. Omukungu oyo owookusatu akulira abasajja amakumi ataano, n'ayambuka ku lusozi, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eliya, n'amwegayirira ng'agamba nti: “Ayi ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde otukwatirwe ekisa, nze n'abaweereza bo bano amakumi ataano, owonye obulamu bwaffe.
14
Omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya era ne gutta abakungu bombi abakulira abasajja amakumi ataano ataano abaasoose, wamu ne basajja baabwe. Naye kaakano, nsaba owonye obulamu bwange.”
15
Awo malayika wa Mukama n'agamba Eliya nti: “Serengeta wamu naye, tomutya.” Eliya n'asituka n'aserengeta wamu n'omukungu, n'agenda eri Kabaka,
16
n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bwe watuma ababaka okwebuuza ku Baalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni, ng'awatali Katonda mu Yisirayeli, tojja kuva ku ndiri gy'oliko, naye oli wa kufa.’ ”
17
Ahaaziya n'akisa omukono, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Eliya. Ahaaziya teyalina mwana wa bulenzi, muganda we Yehoraamu n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Yehoraamu mutabani wa Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya.
18
N'ebirala byonna Kabaka Ahaaziya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25