bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 4
2 Kings 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 5 →
1
Awo nnamwandu w'omu ku b'ekibiina ky'abalanzi n'akaabirira Elisa ng'agamba nti: “Omuweereza wo, baze, yafa. Era omanyi omuweereza wo oyo nga bwe yali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa. Naye kaakano omuntu eyali amubanja azze okutwala abaana bange bombi abafuule abaddu be.”
2
Elisa n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki? Mbulira, olinayo ki mu nnyumba yo?” Omukazi n'addamu nti: “Nze omuweereza wo, sirinaayo kantu na kamu, okuggyako akasumbi akalimu omuzigo.”
3
Elisa n'agamba nti: “Genda weeyazike mu banno bonna ab'omuliraano ebintu ebikalu ebiwerako, mw'osobola okuttululira omuzigo,
4
oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ne batabani bo, ottululire omuzigo mu bintu ebyo byonna, otereke ebijjudde.”
5
Omukazi n'ava ewa Elisa, n'agenda mu nnyumba ye ne batabani be. N'akwata akasumbi akalimu omuzigo, batabani be ne bamuleetera eby'okuttululiramu, n'attulula.
6
By'attuliramu bwe byajjula, n'agamba omu ku batabani be nti: “Ndeetera eky'okuttululiramu ekirala.” Omwana n'amugamba nti: “Tewakyali kittululirwamu kirala.” Awo omuzigo ne gukoma.
7
Omukazi n'ajja n'abibuulira omusajja wa Katonda. Ye n'amugamba nti: “Genda otunde omuzigo ogwo, osasule ebbanja ly'olina, ekinaafikkawo, kikuyimirizeewo ggwe ne batabani bo.”
8
Lwali lumu, Elisa n'atambula n'agenda e Sunemu. Eyo waaliyo omukazi omugagga, ne yeegayirira Elisa okulya ku mmere mu maka ge. Era okuva olwo, Elisa buli lwe yakwatanga ekkubo eryo, yagendanga n'alya ku mmere mu maka ago.
9
Omukazi oyo n'agamba bba nti: “Kaakati ntegedde ng'omusajja ono atera okujja wano muntu wa Katonda.
10
Tumuzimbire nno akasenge mu kalina, tumuteeremu ekitanda, n'entebe n'ettaala, bw'anajjanga gye tuli asulenga omwo.”
11
Lwali lumu Elisa n'ajja e Sunemu, n'ayingira mu kasenge ako, n'agalamirako omwo.
12
N'agamba Gehazi omuweereza we nti: “Yita Omusunammu oyo.” Gehazi n'amuyita. Omukazi n'ajja, n'ayimirira mu maaso ga Gehazi.
13
Elisa n'agamba Gehazi nti: “Mugambe nti: ‘Otutawaanidde nnyo n'otulabirira okwenkana awo. Olina ky'oyagala naffe tukukolere? Oyagala tubeeko ekirungi kye tukwogerera ewa Kabaka oba ew'omukulu w'eggye?’ ” Omukazi n'addamu nti: “Siriiko kye njula, kubanga ndi wano mu bantu bange.”
14
Elisa n'abuuza Gehazi nti: “Kale kiki kye mba mmukolera?” Gehazi n'addamu nti: “Mukaziwattu wuuno talina mwana, ate ne bba mukadde.”
15
Elisa n'agamba nti: “Muyite ajje wano.” Gehazi n'amuyita. Omukazi bwe yajja, n'ayimirira ku mulyango.
16
Elisa n'amugamba nti: “Mu kiseera nga kino omwaka ogujja, oliba olera omwana owuwo ow'obulenzi.” Omukazi n'addamu nti: “Nedda mukama wange, oli musajja wa Katonda, tonguyaaguya nze omuweereza wo.”
17
Omukazi n'aba olubuto, era mu kiseera ng'ekyo omwaka ogwaddirira, n'azaala omwana ow'obulenzi, nga Elisa bwe yamugamba.
18
Lwali lumu omwana oyo ng'akuzeemu, n'agenda okusanga kitaawe mu nnimiro gye yali awamu n'abakunguzi.
19
N'akaabirira kitaawe nti: “Omutwe gunzita, omutwe gunzita!” Kitaawe n'agamba omuweereza nti: “Musitule omutwale ewa nnyina.”
20
Omuweereza n'amusitula n'amutwala ewa nnyina. Nnyina n'amulera. Bwe bwatuuka mu ttuntu, omwana n'afa.
21
Nnyina n'amwambusa, n'amugalamiza ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggaliramu, n'afuluma.
22
N'ayita bba, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpeereza omu ku bavubuka, n'emu ku ndogoyi, ŋŋende bunnambiro ew'omusajja wa Katonda, nkomewo mangu.”
23
Bba n'amubuuza nti: “Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali olwaleero nga si lunaku lukulu lwa kuboneka kwa mwezi, wadde olwa Sabbaato?” Omukazi n'addamu nti: “Tofaayo, naye ndeka ŋŋende.”
24
Omukazi n'atandiika endogoyi, n'agamba omuvubuka nti: “Goba endogoyi eyanguwe. Totta ku bigere okuggyako nga nze nkugambye.”
25
Bw'atyo n'agenda n'atuuka ew'omusajja wa Katonda ku Lusozi Karumeeli. Omusajja wa Katonda bwe yalengera omukazi oyo ng'akyali wala, n'agamba Gehazi omuweereza we nti: “Laba, omukazi Omusunammu wuuyo!
26
Dduka mbiro, omusisinkane, omubuuze nti: ‘Oli bulungi? Ne balo ali bulungi? N'omwana ali bulungi?’ ” Omukazi n'addamu nti: “Bulungi.”
27
Kyokka bwe yatuuka ku lusozi omusajja wa Katonda w'ali, n'amukwata ku bigere. Gehazi n'asembera okumusikawo, naye omusajja wa Katonda n'agamba nti: “Muleke, kubanga omutima gwe munakuwavu. Ate Mukama akinkisizza n'atambuulira.”
28
Omukazi n'agamba nti: “Nze nakusaba omwana ow'obulenzi? Saakugamba nti tonguyaaguya?”
29
Elisa n'agamba Gehazi nti: “Yanguwa mangu okwate omuggo gwange, ogende. Bw'osanga omuntu mu kkubo, tomulamusa. Era bwe wabaawo akulamusa, tomuddamu. Bw'onootuuka, omuggo gwange oguteeke ku mwana.”
30
Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Elisa n'asituka, n'agenda naye.
31
Gehazi n'agenda n'abasookayo, n'ateeka omuggo ku mwana, naye ne wataba kanyego, wadde akakuba. N'addayo okusisinkana Elisa, n'amutegeeza nti: “Omwana tazuukuse.”
32
Elisa bwe yayingira mu kisenge kye, n'alaba omwana ng'afudde era ng'agalamiziddwa ku kitanda kye.
33
Ne yeggaliramu yekka n'omwana, ne yeegayirira Mukama.
34
N'agenda ku kitanda, n'agalamira ku mwana, n'ateeka akamwa ke ku kamwa k'omwana, n'amaaso ge ku maaso g'omwana, n'ebibatu bye ku bibatu by'omwana, ne yeegololera ku ye, omubiri gw'omwana ne gubuguma.
35
Elisa n'asooka asitukawo, n'atambulatambula mu kisenge, n'addayo ne yeegololera ku mwana. Omwana n'ayasimula emirundi musanvu, n'azibula amaaso.
36
Elisa n'ayita Gehazi n'amugamba nti: “Yita Omusunammu oyo.” Gehazi n'amuyita. Omukazi bwe yayingira, Elisa n'amugamba nti: “Omwana wo wuuyo.”
37
Omukazi n'ajja n'avuunama kumpi n'ebigere bya Elisa, n'akutama wansi, n'asitulawo omwana we, n'afuluma.
38
Awo Elisa n'akomawo e Gilugaali ng'enjala ebunye ensi. Ab'ekibiina ky'abalanzi bwe baali batudde mu maaso ge, n'agamba omuweereza we nti: “Teekako entamu ennene obafumbire ebyokulya.”
39
Omu n'ava awo n'agenda ku ttale okunogayo emiboga. N'asanga ekiryo eky'omu nsiko, n'anogako ebibala ebiri ng'emiboga, n'ajjuza ekikondoolo, n'ajja n'abisalaasalira mu ntamu erimu ebyokulya, nga tebabimanyi.
40
Ne bajjulira abantu okulya. Naye olwalyako, ne baleekaana nti: “Ayi omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu obutwa!” Ne batayongera kulya.
41
Elisa n'agamba nti: “Muleeteeyo ku buwunga!” N'abuyiwa mu ntamu. N'agamba nti: “Mubajjulire balye!” Ebyokulya ne birongooka.
42
Lwali lumu ne wajjawo omusajja eyava e Baali Saaliisa, ng'atadde mu nsawo ye ebirimba by'eŋŋaano ebyengevu n'emigaati amakumi abiri egya bbaale eyasookera ddala mu makungula ge, n'abireetera omusajja wa Katonda. Elisa n'agamba omuweereza we nti: “Biwe abantu balye.”
43
Omuweereza we n'agamba nti: “Nkole ntya! Buno bwokka bwe mba mpa abantu ekikumi.” Elisa n'addamu nti: “Abantu bawe balye, kubanga Mukama agamba nti: ‘Bajja kulya balemerwenawo!’ ”
44
Omuweereza n'ateeka ebyokulya ebyo mu maaso gaabwe, ne balya ne balemerwawo, nga Mukama bwe yagamba.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25