bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 6
2 Kings 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 7 →
1
Lwali lumu ab'ekibiina ky'abalanzi abaabeeranga ne Elisa, ne bamugamba nti: “Naawe ssebo nga bw'olaba, ekifo kye tubeeramu naawe, kifunda nnyo.
2
Tukwegayiridde, tukkirize tugende ku Mugga Yorudaani tutemeyo omuti gumu buli muntu, twezimbirewo ekifo eky'okubeeramu.” N'addamu nti: “Kale mugende.”
3
Omu ku bo n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza ogende naffe abaweereza bo.” Elisa n'addamu nti: “Kale tugende.”
4
N'agenda wamu nabo. Bwe baatuuka ku Mugga Yorudaani, ne batema emiti.
5
Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'ewanguka n'egwa mu mazzi. N'aleekaana ng'agamba nti: “Zinsanze nze, mukama wange! Embazzi ebadde neeyazike!”
6
Omusajja wa Katonda n'abuuza nti: “Egudde wa?” Oli n'amulaga ekifo w'egudde. Elisa n'atema ekiti, n'akisuula mu mazzi, n'abbulukusa embazzi eyawanguse.
7
N'agamba nti: “Giggyeeyo ggwe wennyini.” Oli n'agolola omukono n'agiggyayo.
8
Awo kabaka wa Siriya n'aggula olutalo ku Yisirayeli. N'ateesa n'abakungu be, n'alonda ekifo gy'anaakuba olusiisira lwe.
9
Kyokka Elisa omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Yisirayeli ng'agamba nti: “Weekuume, oleme okuyita mu kifo bwe kiti, kubanga eyo Abasiriya basiisiddeyo.”
10
Kabaka wa Yisirayeli n'atuma abantu mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi egiwera, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo.
11
Ekyo ne kireetera kabaka wa Siriya okusoberwa ennyo. N'ayita abakungu be, n'ababuuza nti: “Ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Yisirayeli?”
12
Omu ku bakungu be n'addamu nti: “Tewali n'omu, ayi mukama wange Ssaabasajja, wabula Elisa, omulanzi ali mu Yisirayeli, ye abuulira kabaka wa Yisirayeli ne by'oyogerera mu kisenge kyo ky'osulamu.”
13
Kabaka wa Siriya n'agamba nti: “Mugende muzuule gy'ali, ntume bamukwate bamuleete.” Bwe baamubuulira nti Elisa ali Dotani,
14
n'asindikayo eggye ddene n'embalaasi n'amagaali. Ne lijja kiro, ne lizingiza ekibuga.
15
Omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda bwe yazuukuka enkeera ku makya n'afuluma, n'alaba ab'eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. N'ayanguwa n'agamba mukama we nti: “Zitusanze, ayi mukama wange! Tunaakola tutya?”
16
Elisa n'addamu nti: “Totya! Kubanga abali ku ludda lwaffe, bangi okusinga abali ku ludda lwabwe.”
17
Awo Elisa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe!” Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi oyo. Bwe yatunula n'alaba olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali agaaka omuliro, nga geetoolodde Elisa.
18
Abasiriya bwe bajja okulumba Elisa, Elisa n'asaba Mukama nti: “Ayi Mukama nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano.” Mukama n'aziba amaaso gaabwe, nga Elisa bwe yasaba.
19
Elisa n'agenda gye bali n'abagamba nti: “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga kye mujjiridde. Mungoberere, nze nja kubatuusa ku muntu gwe munoonya.” N'abatwala e Samariya.
20
Bwe baatuuka mu Samariya, Elisa n'asaba Mukama nti: “Ayi Mukama, nkusaba ozibule amaaso gaabwe.” Bwe baatunula ne balaba nga bali mu Samariya wakati.
21
Kabaka wa Yisirayeli bwe yalaba Abasiriya abo, n'abuuza Elisa nti: “Ssebo, mbatte? Mbatte?”
22
Elisa n'addamu nti: “Nedda, tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe.”
23
Kabaka wa Yisirayeli n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Siriya ne bikoma okujjanga mu nsi ya Yisirayeli.
24
Ebyo bwe byaggwa, Benihadadi kabaka wa Siriya n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'agenda n'azingiza Ekibuga Samariya.
25
Olw'okuzingiza okwo, ne waba enjala nnyingi mu kibuga, omutwe gw'endogoyi ne gutuuka okugula sekeli kinaana, n'ekimu ekyokuna ekya kilo ya kalimbwe w'enjiibwa ne kigula sekeli ttaano.
26
Kabaka wa Yisirayeli bwe yali ng'ayita ku kisenge ky'ekibuga, omukazi omu n'amukaabirira ng'agamba nti: “Nnyamba, ayi Ssaabasajja.”
27
Kabaka n'addamu nti: “Mukama bw'anaaba takuyambye, nze naggya wa eby'okukuyamba nga nange mu gguuliro sirinaamu kaakulya, wadde mu ssogolero, akookunywa?”
28
Kabaka n'amubuuza nti: “Obadde ki?” Omukazi n'addamu nti: “Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti: ‘Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange!’
29
Ne tufumba omwana owange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti: ‘Waayo omwana wo tumulye,’ kyokka omwana owuwe amukwese!”
30
Kabaka bwe yawulira ebigambo omukazi oyo bye yayogera, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. Abantu abaali awo ku kisenge ky'ekibuga we yali ayita ne balaba ng'ayambadde ekikutiya ku mubiri gwe olw'okwebonereza.
31
N'agamba nti: “Katonda ambonereze n'obukambwe, Elisa mutabani wa Saafati bw'ataatemweko mutwe olwaleero!”
32
Kabaka n'atumira Elisa omubaka. Mu kiseera ekyo Elisa yali wuwe eka n'abamu ku bantu abakulu abaali bazze okumulaba. Omubaka wa Kabaka yali tannatuuka, Elisa n'agamba abakulu abo nti: “Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggalewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira.” Ne kabaka yennyini anajja ng'amuvaako emabega.
33
Yali ng'akyayogera nabo, omubaka n'atuuka w'ali n'agamba nti: “Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25