bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 9
2 Kings 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 10 →
1
Awo Elisa omulanzi n'ayita omu ku b'ekibiina ky'abalanzi, n'amugamba nti: “Weeteeketeeke, okwate eccupa eno ey'omuzigo, ogende e Ramoti Gileyaadi.
2
Bw'onootuukayo, onoonye Yeehu mutabani wa Yehosafaati era muzzukulu wa Nimusi. Oyingire mu nnyumba mw'ali, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge ekyomunda.
3
Okwate eccupa y'omuzigo, ogumufuke ku mutwe, ogambe nti Mukama agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka wa Yisirayeli.’ ” Olwo olyoke oggulewo oluggi odduke, oveeyo mangu.
4
Awo omuvubuka omulanzi n'agenda e Ramoti Gileyaadi,
5
n'asangayo abakulu mu ggye nga batudde. N'agamba nti: “Ssebo, ndiko kye ntumiddwa gy'oli.” Yeehu, n'abuuza nti: “Ogamba ani ku ffe ffenna?” N'addamu nti: “Ggwe ssebo.”
6
Yeehu n'asituka, bombi ne bayingira mu kisenge. Omuvubuka omulanzi n'afuka omuzigo ku mutwe gwa Yeehu, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka w'abantu bange Abayisirayeli.
7
Era olitta ab'ennyumba ya Ahabu mukama wo, mpoolere eggwanga olw'abaweereza bange abalanzi, n'olw'abaweereza bange abalala, Yezebeeli be yatta.
8
Ab'ennyumba ya Ahabu bonna ba kuzikirira. Ndimalirawo ddala mu Yisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuto n'omukulu asibuka mu Ahabu.
9
Ab'ennyumba ya Ahabu ndibafuula ng'ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, era ng'ab'ennyumba ya Baasa, mutabani wa Ahiya.
10
Tewaliba aziika Yezebeeli, wabula omulambo gwe embwa ziriguliira mu bitundu by'e Yezireeli.’ ” Omuvubuka omulanzi bwe yamala okwogera ebyo, n'aggulawo oluggi n'afuluma n'adduka.
11
Awo Yeehu n'afuluma n'addayo mu bakungu banne. Omu ku bo n'amubuuza nti: “Bye mubaddeko bya mirembe? Olusajja olwo olulalulalu lubadde lukwagaza ki?” N'abagamba nti: “Nammwe omusajja oyo mumumanyi n'ebigambo bye.”
12
Ne bagamba nti: “Olimba. Tubuulire kaakano.” N'agamba nti: “Aŋŋambye bw'ati ne bw'ati nti Mukama agamba nti: ‘Nkufuseeko omuzigo obe kabaka wa Yisirayeli.’ ”
13
Amangwago buli omu n'ayambulamu omunagiro gwe ne bagyaliira ku madaala Yeehu alinnyeko. Ne bafuuwa ekkondeere, ne bagamba nti: “Yeehu ye kabaka!”
14
Awo Yeehu mutabani wa Yehosafaati era muzzukulu wa Nimusi n'akola olukwe okutta Yoraamu. Mu kiseera ekyo, Yoraamu n'Abayisirayeli bonna baali bakuuma Ramoti Gileyaadi kireme kuwambibwa Hazayeeli, kabaka wa Siriya.
15
Kyokka Kabaka Yoraamu yali azzeeyo e Yezireeli amale okussuuka ebiwundu, Abassiriya bye baamufumita ng'alwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya. Awo Yeehu n'agamba bakungu banne nti: “Oba nga muli ku ludda lwange, temukkiriza muntu n'omu kuseguka n'abomba mu kibuga agende mu bubba okumanyisa ab'e Yezireeli.”
16
Awo Yeehu n'alinnya mu ggaali lye, n'agenda e Yezireeli, kubanga Yoraamu gye yali alwalidde, ne Ahaaziya kabaka wa Buyudaaya yali agenzeeyo okumulaba obulwadde.
17
Awo omukuumi yali ayimiridde ku munaala mu Yezireeli, n'alengera Yeehu n'ekibinja kye nga bajja. N'agamba nti: “Ndaba ekibinja ky'abantu ekijja.” Yehoraamu n'agamba nti: “Funayo omuntu omutume agendere ku mbalaasi okubasisinkana, abuuze nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ”
18
Eyeebagadde embalaasi n'agenda okusisinkana Yeehu. N'amugamba nti: “Kabaka abuuza nti: ‘Ozze lwa mirembe?’ ” Ye n'addamu nti: “Emirembe ogifaako ki? Yitawo, odde emabega wange, ongoberere!” Omukuumi n'azzaayo obubaka ng'agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, kyokka tadda.”
19
N'atuma omulala eyeebagadde embalaasi, n'abatuukako, n'agamba nti: “Kabaka abuuza nti: ‘Muzze lwa mirembe?’ ” Yeehu n'addamu nti: “Emirembe ogifaako ki? Yitawo, odde emabega wange, ongoberere!”
20
Omukuumi era n'azzaayo obubaka ng'agamba nti: “Omubaka abatuuseeko, kyokka tadda! N'envuga y'eggaali eri ng'eya Yeehu muzzukulu wa Nimusi, kubanga Yeehu avuga kiralu!”
21
Yehoraamu n'agamba nti: “Muteeketeeke eggaali lyange.” Ne baliteekateeka. Awo Yehoraamu kabaka wa Yisirayeli ne Ahaaziya, kabaka wa Buyudaaya, ne bafuluma nga buli omu ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeehu, ne bamusanga mu nnimiro eyali eya Naboti Omuyezireeli.
22
Awo Yehoraamu bwe yalaba Yeehu, n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe, Yeehu?” Yeehu n'addamu nti: “Mirembe ki, ng'okusinza ebitali Katonda n'obulogo ebya nnyoko Yezebeeli bikyali bingi okwenkana awo?”
23
Yehoraamu n'akyusa eggaali lye, n'adduka nga bw'agamba Ahaaziya nti: “Waliwo olukwe, munnange Ahaaziya!”
24
Yeehu n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna, n'alasa Yehoraamu akasaale mu mugongo wakati, ne kamuyita mu mutima, n'agwa mu ggaali lye.
25
Yeehu n'agamba Bidikaari omukungu we nti: “Musitule, omusuule mu nnimiro y'omugabo gwa Naboti Omuyezireeli, kubanga jjukira, nze naawe bwe twali twebagadde embalaasi nga ffembi tugoberera Ahabu kitaawe, Mukama bwe yayogera ebigambo bino ebikolimira Ahabu nti:
26
‘Jjo nalaba Naboti ne batabani be nga batemuddwa. Kale ndikubonereza mu nnimiro eno.’ N'olwekyo musitule, omusuule mu nnimiro eyo, okutuukiriza ekyo Mukama kye yagamba.”
27
Ahaaziya kabaka wa Buyudaaya bwe yalaba ebiguddewo, n'addukira mu ggaali lye, ng'akutte ekkubo erigenda e Beeti-Haggani. Yeehu n'amuwondera, era n'agamba basajja be nti: “N'oyo mumuttire mu ggaali lye.” N'addukira e Megiddo, n'afiira eyo.
28
Abaweereza be ne bamutwalira mu ggaali lye, ne bamuzzaayo e Yerusaalemu, ne bamuziika mu ntaana ye mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi.
29
Ahaaziya yafuuka kabaka wa Buyudaaya mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye Kabaka wa Yisirayeli.
30
Awo Yeehu n'atuuka mu Yezireeli. Yezebeeli bwe yamanya ebiguddewo, ne yeetona amaaso ge, n'atereeza enviiri ze, n'atunula mu luguudo ng'asinziira mu ddirisa.
31
Yeehu bwe yali ng'ayingira mu mulyango, Yezebeeli n'amukoowoola nti: “Ggwe Zimuri, eyatta mukama wo, ozze lwa mirembe?”
32
Yeehu n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu awali eddirisa, n'agamba nti: “Ani ali ku ludda lwange, ani?” Abalaawe b'omu lubiri babiri oba basatu ne balingiza gy'ali.
33
Yeehu n'abagamba nti: “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, omusaayi gwe ne gumansukira ku kisenge ne ku mbalaasi. Yeehu n'amulinnyirira n'eggaali lye.
34
Yeehu n'ayingira mu lubiri, n'alya, n'anywa, n'agamba nti: “Mulabe nti muziika omukazi oyo eyakolimirwa, kubanga muwala wa kabaka.”
35
Ne bagenda okumuziika, kyokka ne batasangawo kirala ku ye okuggyako ekiwanga, n'ebigere, n'ebibatu by'emikono gye.
36
Bwe baakomawo ne babuulira Yeehu. Yeehu n'agamba nti: “Ekyo Mukama kye yagamba ng'ayita mu muweereza we Eliya Omutisubi nti: ‘Embwa ziririira omulambo gwa Yezebeeli mu nnimiro y'e Yezireeli.
37
Ebisigala bye biriba ng'obusa mu nnimiro eyo, wabulewo ayinza n'okugamba nti ono ye Yezebeeli.’ ”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25