bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 24
2 Kings 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 25 →
1
Yehoyakiimu bwe yali nga ye kabaka, Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya n'alumba Buyudaaya, Yehoyakiimu n'afuuka omuweereza we okumala emyaka esatu, oluvannyuma n'amwefuulira, n'amujeemera.
2
Awo Mukama n'asindika ebibinja by'Abakaludaaya, n'eby'Abassiriya, n'eby'Abammoni okulumba Yehoyakiimu, bizikirize Buyudaaya, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu baweereza be abalanzi.
3
Ddala Mukama ye yalagira kibe bwe kityo, okuggyawo abantu b'omu Buyudaaya mu maaso ge, olw'ebibi byonna Kabaka Manasse bye yakola,
4
naddala olw'abantu abataliiko musango Manasse oyo be yatta, kubanga yajjuza Yerusaalemu omusaayi gw'abantu be yattira obwereere. Mukama n'asalawo obutasonyiwa Manasse olw'ekyo.
5
N'ebirala byonna Yehoyakiimu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
6
Awo Yehoyakiimu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, Yehoyakiini mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
7
Kabaka wa Misiri teyaddamu kuva mu nsi ye kujja kulumba, kubanga Kabaka w'e Babilooniya yali yeefuze ekitundu kyonna ekyabanga ekya kabaka w'e Misiri, okuva ku Kagga k'e Misiri, okutuuka ku Mugga Ewufuraate.
8
Yehoyakiini yali wa myaka kkumi na munaana we yafuukira kabaka, n'afugira mu Yerusaalemu emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nehusita, muwala wa Elunatani ow'e Yerusaalemu.
9
N'akola ebitasiimibwa Mukama ng'ebya bajjajjaabe byonna bye baakolanga.
10
Mu biseera ebyo, eggye lya Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooniya ne lijja e Yerusaalemu, ne likizingiza.
11
Ne Nebukadunezzari kennyini n'ajja e Yerusaalemu, eggye lye nga likizingizizza.
12
Yehoyakiini kabaka wa Buyudaaya, ng'ali wamu ne nnyina, n'abaweereza be, n'abakungu be, n'abaami be, n'avaayo, ne yeewaayo mu mikono gya Kabaka w'e Babilooniya. Nebukadunezzari mu mwaka ogw'omunaana nga ye kabaka, n'akwata Yehoyakiini n'amusiba.
13
Ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo, n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abiggyamu, n'abitwala. Era nga Mukama bwe yagamba, Nebukadunezzari n'amenyaamenya ebintu byonna ebya zaabu, Solomooni kabaka wa Yisirayeli bye yali atadde mu Ssinzizo.
14
Nebukadunezzari n'atwala abantu b'omu Yerusaalemu nga basibe: abakungu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe omutwalo gumu bonna awamu, omwali abaweesi, n'abakugu bonna mu mirimu egitali gimu. Tewali baasigalayo mu Buyudaaya, okuggyako abo abaali abaavu lunkupe.
15
Kabaka w'e Babilooniya n'atwala Yehoyakiini e Babilooni wamu ne nnyina, ne bakazi be, n'abakungu be, n'abantu abatutumufu mu Buyudaaya. N'abaggya e Yerusaalemu, n'abatwala e Babilooni nga basibe.
16
Abasajja bonna ab'amaanyi abazira baali kasanvu. Abakugu mu kukola emirimu, omwali n'abaweesi, baali lukumi. Bonna abo baali bazira abasobola okulwana mu lutalo, n'abatwala e Babilooniya nga basibe.
17
Awo kabaka w'e Babilooniya n'alonda Mattaniya, kitaawe omuto owa Yehoyakiini, n'amufuula kabaka mu kifo kya Yehoyakiini, n'akyusa erinnya lye, n'amutuuma Zeddeekiya.
18
Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hamutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
19
Kabaka Zeddeekiya n'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'ebyo byonna Yehoyakiimu bye yakola.
20
Mukama n'asunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya, n'abagoba mu maaso ge. Zeddeekiya n'ajeemera kabaka w'e Babilooniya.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25