bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 17
2 Kings 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 18 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga Ahazi ye kabaka wa Buyudaaya, Hoseya mutabani wa Ela n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka mwenda.
2
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, kyokka n'atenkana bassekabaka ba Yisirayeli abaamusooka.
3
Kabaka Salumaneseri owa Assiriya n'alumba Hoseya n'amulwanyisa mu lutalo, n'amuwangula, Hoseya n'awanga Salumaneseri omusolo.
4
Naye kabaka oyo owa Assiriya, n'amanya olukwe lwa Hoseya olw'okujeema, nga Hoseya atumidde So, kabaka wa Misiri ababaka amuyambe, bw'atyo Hoseya n'atawa kabaka wa Assiriya musolo nga bwe yakolanga buli mwaka. Awo kabaka wa Assiriya n'akwata Hoseya n'amusiba mu kkomera.
5
Awo kabaka wa Assiriya n'alumba ensi ya Yisirayeli, n'azingiza Ekibuga Samariya okumala emyaka esatu.
6
Mu mwaka ogw'omwenda nga Hoseya ye kabaka wa Yisirayeli, kabaka wa Assiriya n'awamba Ekibuga Samariya, n'atwala ab'omu Yisirayeli mu Assiriya nga basibe, abamu n'abateeka mu Kibuga Hala, abalala mu Kitundu ky'e Gozani okumpi n'Omugga Habori, ne mu bibuga by'Abameedi.
7
Ekyo kyabaawo, kubanga Abayisirayeli baakola ebibi ne banyiiza Mukama, Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri mu mikono gya kabaka waayo, ne basinzanga balubaale,
8
ne bagoberera empisa z'ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo nga bo Abayisirayeli banaatera okutuuka, era ne bakolera ku bulombolombo bassekabaka ba Yisirayeli bwe baateekawo.
9
Abayisirayeli ne bakoleranga mu kyama ebintu ebitali birungi era ebitasanyusa Mukama, Katonda waabwe. Ne beezimbira ebifo ebigulumivu eby'okusinzizangamu mu bibuga byabwe byonna ebinene n'ebitono.
10
Ne basimba ku buli lusozi oluwanvu, na buli wansi wa muti ogw'amakoola empagi z'amayinja n'ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi.
11
Ne banyookerezanga obubaane mu bifo byonna ebigulumivu, ng'ab'amawanga amalala abo bwe baakolanga, Mukama be yaggyawo nga bo Abayisirayeli banaatera okutuuka. Ne bakolanga ebibi, ne basunguwaza Mukama,
12
ne basinza ebyo ebitali Katonda, Mukama bye yabagamba nti: “Temuubisinzenga!”
13
Mukama n'alabulanga Yisirayeli ne Buyudaaya ng'ayita mu buli mulanzi ne mu buli mulabi, ng'agamba nti: “Mukyuke, mulekeeyo empisa zammwe embi, mukwate ebiragiro byange bye nabateerawo mu mateeka gange ge nawa bajjajjammwe nga mpita mu baweereza bange abalanzi.”
14
Kyokka ne batawulira, wabula ne bakakanyaza emitima gyabwe nga bajjajjaabwe abaagaana okwesiga Mukama, Katonda waabwe, bwe baakola.
15
Ne bagaana okukwata amateeka ge, n'okukuuma endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, ne batafa ku kulabula kwe yabalabulamu. Ne basinza ebitagasa, nabo ne bafuuka ebitagasa, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga agabeetoolodde, nga sso Mukama yabagaana okuyisa ng'ab'amawanga ago.
16
Ne bava ku biragiro byonna ebya Mukama, Katonda waabwe, ne beekolera mu kyuma ekisaanuuse ebifaananyi bye banaasinzanga: ennyana bbiri, n'ekifaananyi kya lubaale omukazi, Asera. Ne basinzanga emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, era ne baba baweereza ba Baali.
17
Ne bawangayo abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala ne baba ebitambiro ebyokebwa. Ne balagulwanga era ne bakolanga eby'obulogo, ne beeweerangayo ddala okukola ebibi, ne banyiiza Mukama.
18
Mukama bw'atyo n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'abagoba mu maaso ge ne watasigalawo n'omu, okuggyako ab'omu Buyudaaya bokka.
19
Naye n'ab'omu Buyudaaya ne batakwatanga biragiro bya Mukama, Katonda waabwe, wabula ne bagobereranga obulombolombo ab'omu Yisirayeli bwe beeteerawo.
20
Mukama n'aboola Abayisirayeli bonna, n'ababonereza ng'abawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.
21
Mukama bwe yayawula Yisirayeli ku b'ennyumba ya Dawudi, ab'omu Yisirayeli, Yerobowaamu mutabani wa Nebaati gwe baafuula kabaka waabwe. Yerobowaamu oyo, n'asigula ab'omu Yisirayeli okuva ku Mukama, bw'atyo n'abaleetera okukola ekibi ekinene.
22
Ab'omu Yisirayeli ne bagoberera Yerobowaamu, ne bongera okukolanga ebibi byonna Yerobowaamu bye yakola,
23
okutuusa Mukama lwe yabaggya mu maaso ge nga bwe yabalabula ng'ayita mu baweereza be bonna abalanzi. Awo ab'omu Yisirayeli ne baggyibwa mu nsi yaabwe, ne batwalibwa mu Assiriya gye bakyali ne leero.
24
Awo kabaka wa Assiriya n'asengula abantu okubaggya mu bibuga Babilooni, ne Kuuti, ne Avva, ne Hamati, ne Sefarivayimu, n'abasenza mu bibuga bya Samariya, mu kifo ky'Abayisirayeli. Abantu abo ne beefuga ensi y'e Samariya, ne babeera mu bibuga byayo.
25
Bwe baali baakatandika okubeeramu, tebassaamu Mukama kitiibwa, Mukama kyeyava abasindikira empologoma ne zibattamu abamu.
26
Ne wabaawo abaabuulira kabaka wa Assiriya nti: “Abantu be watwala n'obasenza mu bibuga by'e Samariya, tebamanyi mateeka ga lubaale wa mu nsi eyo, lubaale oya kyeyava asindika empologoma, era ziri eri zibatta.”
27
Awo kabaka wa Assiriya n'alagira nti: “Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo agende abeere eyo, abayigirize amateeka ga lubaale w'omu nsi eyo.”
28
Awo omu ku bakabona be baggya mu Samariya, n'agenda n'abeera e Beteli, n'abayigirizanga bwe basaanye okussaamu Mukama ekitiibwa.
29
Naye abantu aba buli ggwanga, mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, ne bongera okwekoleranga ebifaananyi bya balubaale baabwe, ne babiteeka mu nfo ez'okusinzizangamu, Abayisirayeli ze baaleka bakoze.
30
Abantu abaava e Babilooni ne bakola ebifaananyi bya lubaale Sukkoti Benooti, abaava e Kuusi ne bakola ebya lubaale Nerugali, abaava e Hamati ne bakola ebya lubaale Asima;
31
abaava mu Avva ne bakola ebya balubaale Nibuhazi ne Tarutaaki. Abantu abaava e Sefarivayimu ne batambiriranga balubaale baabwe, Adurammeleki ne Anammeleki, abaana baabwe nga babookya mu muliro.
32
Abantu bano, ne Mukama baamusinzanga, era ne beerondangamu mu bo bennyini bakabona abaabaweerangayo ebitambiro mu nfo zaabwe ez'okusinzizangamu, mu bifo ebigulumivu.
33
Bwe batyo ne bassangamu Mukama ekitiibwa, naye era ne babanga baweereza ba balubaale baabwe, nga bagoberera obulombolombo bw'ensi mwe baava.
34
Ne leero bakyakola nga bwe baakolanga edda. Tebassaamu Mukama kitiibwa era tebakwata byabalagirwa n'ebyabakuutirwa, wadde okugondera amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa ab'ezzadde lya Yakobo gwe yatuuma Yisirayeli.
35
Mukama yakola nabo endagaano, n'abakuutira ng'agamba nti: “Temuusinzenga balubaale, temuubavuunamirenga, era temuubenga baweereza baabwe, wadde okuwangayo ekitambiro eri balubaale abo.
36
Naye munaasinzanga Nze Mukama, eyabaggya mu nsi ye Misiri, nga nkozesa amaanyi amangi n'obuyinza obungi. Nze gwe munaavuunamiranga, era Nze gwe munaawanga ebitambiro.
37
Amateeka gonna n'ebiragiro bye nabawandiikira, munassangayo omwoyo okubikwatanga ennaku zonna. Temuusinzenga balubaale.
38
Endagaano gye nkoze nammwe, temugyerabiranga, era temuusinzenga balubaale.
39
Naye Nze Mukama, Katonda wammwe, Nze mubanga musinza, era Nze nnaabawonyanga abalabe bammwe bonna.”
40
Naye abantu abo ne batawulira, wabula ne basigala nga bakyagoberera empisa zaabwe ez'edda.
41
Kale abantu ab'amawanga ago ne basinzanga Mukama, kyokka era ne basinzanga n'ebifaananyi bya balubaale baabwe ebyole. N'abaana baabwe nabo bwe batyo bwe baakolanga, era ne bazzukulu baabwe bwe bakyakola n'okutuusa kati.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25