bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 21
2 Kings 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 22 →
1
Manasse yali wa myaka kkumi n'ebiri we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka amakumi ataano mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hefuziba.
2
N'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'agoberera empisa embi ddala ez'ab'amawanga amalala Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka.
3
Kubanga Manasse yazimba buggya ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu, Heezeekiya kitaawe bye yali azikirizza. N'ateerawo Baali zaalutaari, n'akola ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera, nga Ahabu kabaka wa Yisirayeli bwe yakola. N'asinza byonna ebyakira ku ggulu, n'aba muweereza waabyo.
4
N'azimba zaalutaari mu Ssinzizo, Mukama lye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemu mwe banansinzizanga.”
5
Era n'azimbira ebyakira ku ggulu byonna zaalutaari mu mpya ebbiri ez'Essinzizo.
6
Era n'ayokya mutabani we ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Ne yeebuuzanga ku mmandwa ne ku basamize, n'akola eby'obulogo. N'akolagana n'abo abayita emizimu era n'abalogo.
7
Ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera kye yakola, n'akiteeka mu Ssinzizo, Essinzizo Mukama lye yagamba Dawudi ne Solomooni mutabani we nti: “Mu Ssinzizo lino ne mu Yerusaalemu, ekibuga kye nneeroboza mu bibuga by'Ebika byonna ebya Yisirayeli, mwe baba bansinzizanga ennaku zonna.
8
Era siriddamu kuggya Bayisirayeli mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe banassangayo omwoyo okukola byonna bye mbalagidde, n'okukuuma amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo bye nabawa nga mbiyisa mu Musa omuweereza wange.”
9
Manasse n'awabya ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ne bakola ebibi okusinga n'ab'amawanga Mukama ge yazikiriza ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka mu nsi eyo.
10
Awo Mukama ng'ayita mu baweereza be abalanzi, n'agamba nti:
11
“Manasse kabaka wa Buyudaaya akoze ebyenyinyalwa ebyo, era akoze ebibi ebisinga byonna Abaamori abaamusooka bye baakola, n'aleetera n'ab'omu Buyudaaya okwonoona nga basinza ebifaananyi bye yateekawo.
12
N'olwekyo nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ŋŋamba nti: ‘Kale nja kuleeta akabi ku Yerusaalemu ne ku Buyudaaya, buli anaakawulirangako, amatu ge gawaawaalenga.
13
Ndibonereza Yerusaalemu nga bwe nabonereza Samariya, era nga bwe nabonereza Ahabu kabaka wa Yisirayeli n'ab'ezzadde lye. Ndisaanyaawo abantu mu Yerusaalemu, ng'omuntu bw'asiimuula essowaani: bw'amala okugisiimuula, n'agivuunika.
14
Ndyabulira abantu bange abaliwonawo, ne mbawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe babayigge ng'ensolo, babakwate era babafuule omunyago gwabwe.
15
Ndikola ekyo, kubanga abantu bange bakoze bye sisiima, ne bansunguwaza okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe lwe baaviirako mu Misiri n'okutuusa kati.’
16
“N'ekirala, Manasse yatta abantu bangi nnyo, n'ajjuza Yerusaalemu omusaayi gw'abatalina musango. Okwo n'ayongerako ekibi kye eky'okuleetera ab'omu Buyudaaya okukola ebitasiimibwa Mukama.”
17
N'ebirala byonna Manasse bye yakola omuli n'okwonoona kwe, kwe yayonoonamu, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
18
Manasse n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu nnimiro y'omu lubiri, ennimiro ya Wuzza, mutabani we Amoni n'amusikira ku bwakabaka.
19
Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Mesullemeti, muwala wa Haruuzi, ow'e Yotiba.
20
N'akola ebitasiimibwa Mukama, nga Manasse kitaawe bye yakola.
21
N'agoberera empisa za kitaawe: n'asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga, n'abivuunamiranga.
22
Ne yeggya ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n'atakwata biragiro bya Mukama.
23
Abakungu be ne bamukolera olukwe, ne bamutemulira mu lubiri lwe.
24
Kyokka abantu ab'omu nsi eyo ne batta bonna abaakolera Kabaka Amoni olukwe, ne bateekako mutabani we Yosiya okumusikira ku bwakabaka.
25
N'ebirala byonna Amoni bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
26
Amoni n'aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Wuzza, mutabani we Yosiya n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25