bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 5
2 Kings 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 6 →
1
Naamani, Omuduumizi w'eggye lya kabaka wa Siriya yali muntu waakitiibwa era asiimibwa ennyo mukama we, kubanga olwa Naamani oyo, Mukama yali awadde Siriya obuwanguzi. Naamani yali musajja wa maanyi omuzira, kyokka yali mugenge.
2
Abasiriya mu bikwekweto byabwe baali banyaze mu nsi ya Yisirayeli omuwala omuto, n'afuuka omuweereza wa muka Naamani.
3
Lumu omuwala oyo n'agamba mugole we nti: “Singa mukama wange agendako ew'omulanzi ali e Samariya, omulanzi oyo yandimuwonyezza ebigenge bye!”
4
Naamani n'agenda n'ategeeza mukama we nti: “Omuwala eyaggyibwa mu nsi ya Yisirayeli agambye bw'ati ne bw'ati.”
5
Kabaka wa Siriya n'agamba nti: “Kale genda. Nja kuwandiikira kabaka wa Yisirayeli ebbaluwa ogimutwalire.” Awo Naamani n'agenda ng'atutte talanta kkumi eza ffeeza, n'ebitundu kakaaga ebya zaabu, n'emigogo kkumi egy'ebyambalo.
6
N'aleetera kabaka wa Yisirayeli ebbaluwa ng'esoma bw'eti: “Ebbaluwa eno ng'ekutuuseeko, ya kukwanjulira mukungu wange Naamani gwe nkuweerezza omuwonye ebigenge bye.”
7
Kabaka wa Yisirayeli bwe yasoma ebbaluwa eyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'agamba nti: “Nze ndi Katonda? Nnina obuyinza okutta n'okugaba obulamu? Omusajja ono ayinza atya okuntumira okuwonya omuntu ebigenge bye! Mufumiitirize mulabe bw'anoonya ky'anasinziirako okuyomba nange!”
8
Elisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Yisirayeli ayuzizza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'amutumira ng'agamba nti: “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo olw'okusoberwa? Leka ajje gye ndi, kale anaamanya nga mu Yisirayeli mulimu omulanzi.”
9
Awo Naamani n'ajja n'embalaasi ze, n'amagaali ge, n'asibira ku mulyango gw'ennyumba ya Elisa.
10
Elisa n'amutumira omubaka okumugamba nti: “Genda onaabe emirundi musanvu mu Mugga Yorudaani, ojja kuwona obe mulongoofu.”
11
Kyokka Naamani n'asunguwala, n'agenda ng'agamba nti: “Kale laba! Mbadde ndowooza ng'anaavaayo n'ayimirira we ndi, ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayisaayisa engalo ze awali ebigenge, n'amponya!
12
Emigga Abana ne Farupari egy'e Damasiko tegiriimu mazzi agasinga amazzi ga Yisirayeli gonna obulungi? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu?” N'akyuka, n'agenda ng'aliko n'obuswandi.
13
Abaweereza be ne bamusemberera ne bamugamba nti: “Ssebo, singa omulanzi akugambye okukola ekintu ekinene, tewandikikoze? Kale tosinga nnyo okwanguyirwa nga bw'akugambye nti: ‘Naaba obe mulonguufu?’ ”
14
Awo Naamani n'aserengeta, ne yennyika mu Mugga Yorudaani emirundi musanvu, ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba, n'awonera ddala, omubiri gwe ne guba ng'ogw'omwana omuto.
15
N'addayo ew'omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda wa Yisirayeli ye Katonda w'ensi zonna, teri mulala. Kale nkwegayiridde okkirize nkuwe ekirabo, nze omuweereza wo kye nkuleetedde.”
16
Elisa n'agamba nti: “Mu mazima, nga Mukama gwe mpeereza bw'ali omulamu, sijja kubaako kintu na kimu kye ntwala.” N'amwegayirira nnyo okukitwala, kyokka ye n'agaana.
17
Awo Naamani n'agamba nti: “Oba okigaanyi, nkwegayiridde ompe ettaka eriyinza okwetikkibwa ennyumbu ebbiri, nditwale ewaffe, kubanga okuva kati, nze omuweereza wo, siiwengayo ebiweebwayo ebyokebwa, wadde ebitambiro eri lubaale n'omu, wabula eri Mukama.
18
Naye mu kino, Mukama ansonyiwenga nze omuweereza wo, bwe nnaawerekeranga mukama wange kabaka wa Siriya, okugenda mu ssabo lya Rimmoni lubaale wa Siriya, okusinzizaayo. Bwe nnaavuunamanga mu ssabo lya Rimmoni, Mukama ansonyiwenga mu ekyo.”
19
Elisa n'amugamba nti: “Genda mirembe.” Ne baawukana, Naamani n'agenda. Yali yaakatambulako katono,
20
Gehazi omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda, n'agamba nti: “Laba mukama wange bw'alese Naamani ono Omussiriya okugenda n'atamuggyako ebyo bye yaleeta! Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, nja kudduka, mmugoberere, mbeeko kye mmuggyako.”
21
Gehazi n'adduka ng'amugoberera, n'ava mu ggaali okumusisinkana. N'amubuuza nti: “Eriyo omutawaana?”
22
Gehazi n'addamu nti: “Teri mutawaana, naye mukama wange antumye okukugamba nti: ‘Mu kaseera kano abavubuka babiri ku b'ekibiina ky'abalanzi, kye bajje bantuukeko nga bava mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Nkusaba obawe talanta emu eya ffeeza, n'emigogo ebiri egy'ebyambalo.’ ”
23
Naamani n'agamba nti: “Kkiriza otwale talanta bbiri.” N'amwegayirira nnyo, n'asiba talanta ezo ebbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, wamu n'emigogo ebiri egy'ebyambalo, n'abikwasa abaweereza be babiri, ne babitwala nga bakulembeddemu Gehazi.
24
Bwe baatuuka ku lusozi Elisa kwe yali, Gehazi n'abibaggyako, n'abitereka mu nnyumba. N'agamba abaweereza ba Naamani ne baddayo.
25
N'ayingira mu nnyumba n'ayimirira mu maaso ga Elisa mukama we. Elisa n'amubuuza nti: “Ova wa Gehazi?” Gehazi n'addamu nti: “Nze omuweereza wo, sinnabaako we ndaga.”
26
Kyokka Elisa n'amugamba nti: “Sibadde naawe mu mwoyo, omusajja bw'avudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera okwefunira ensimbi n'ebyambalo, n'ennimiro z'emizayiti n'ez'emizabbibu, n'endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana?
27
Kale nno ebigenge bya Naamani binaakukwata ggwe, era binaabanga n'ab'ezzadde lyo emirembe gyonna.” Gehazi n'ava awali Elisa nga Gehazi mugenge, atukula ng'omuzira.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25