bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 15
2 Kings 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 16 →
1
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Yerobowaamu Owookubiri ye kabaka wa Yisirayeli, Azariya mutabani wa Amaziya n'afuuka kabaka wa Buyudaaya,
2
nga wa myaka kkumi na mukaaga, n'afugira mu Yerusaalemu emyaka ataano mu ebiri. Nnyina yali Yekoliya ow'e Yerusaalemu.
3
Azariya n'akola ebyo Mukama by'asiima, ng'ebyo Amaziya kitaawe bye yakolanga.
4
Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu teyabiggyaawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro, n'okunyookerezanga obubaane mu bifo ebyo.
5
Awo Mukama n'alwaza Azariya ebigenge, n'aba mugenge okutuusa okufa. N'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka. Mutabani we Yotamu nga ya abeera mu lubiri, era nga ye afuga ensi eyo.
6
N'ebirala byonna Azariya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
7
Azariya n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Yotamu n'amusikira ku bwakabaka.
8
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Zekariya mutabani wa Yerobowaamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyezi mukaaga.
9
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama nga bajjajjaabe bwe baakolanga. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
10
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amukolera olukwe, n'amufumitira mu maaso g'abantu, n'amutta, n'afuga mu kifo kye.
11
N'ebirala byonna Zekariya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
12
Ekyo Mukama kye yagamba Yeehu nti: “Ab'ezzadde lyo balibeera bakabaka ba Yisirayeli okutuuka ku zzadde eryokuna,” bwe kityo ne kituukirira.
13
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Sallumu mutabani wa Yabesi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya omwezi gumu.
14
Awo Menahemu mutabani wa Gaadi, n'ava e Tiruza n'ajja e Samariya, n'atta Sallumu, n'afuga mu kifo kye.
15
N'ebirala byonna Sallumu bye yakola, omuli n'eby'olukwe lwe yakola okutta Zekariya, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
16
Awo Menahemu n'azikiriza Ekibuga Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ebitundu ebikiriraanye okuviira ddala e Tiruza, kubanga tebaamuggulirawo. N'abakazi bonna abaali embuto abaakirimu n'ababaaga!
17
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Menahemu mutabani wa Gaadi, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi.
18
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. Ennaku zonna ez'obulamu bwe, n'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
19
Puuli kabaka wa Assiriya, n'alumba Yisirayeli. Menahemu n'awa Puuli oyo talanta lukumi eza ffeeza, Puuli ayambe Menahemu okunyweza obuyinza bwe mu bwakabaka.
20
Ensimbi ezo ez'okuwa kabaka wa Assiriya, Menahemu n'azisolooza ku basajja bonna abagagga ab'omu Yisirayeli, buli musajja n'awa sekeli amakumi ataano eza ffeeza. Kabaka wa Assiriya n'addayo ewaabwe, n'atasigala mu nsi eyo eya Yisirayeli.
21
N'ebirala byonna Menahemu bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
22
Menahemu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, mutabani we Pekahiya n'amusikira ku bwakabaka.
23
Mu mwaka ogw'amakumi ataano nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Pekahiya mutabani wa Menahemu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka ebiri.
24
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
25
Awo omuduumizi w'eggye lye ayitibwa Peka, mutabani wa Remaaliya, n'akola olukwe n'abasajja amakumi ataano abaava e Gileyaadi, n'amufumitira e Samariya mu kigo ekigumu eky'okwerindiramu ekyomunda mu lubiri, n'amutta, wamu ne Arugobu, ne Ariye. N'afuuka kabaka mu kifo kye.
26
N'ebirala byonna Pekahiya bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
27
Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri nga Azariya, ye kabaka wa Buyudaaya, Peka mutabani wa Remaaliya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka amakumi abiri.
28
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
29
Mu mulembe gwa Peka, kabaka wa Yisirayeli, Tigulati Pileseri kabaka wa Assiriya, n'ajja n'awamba ebibuga Yijoni ne Abeli Beeti Maaka, ne Yanowa, ne Kedesi, ne Hazori, n'ebitundu by'e Gileyaadi, n'eby'e Galilaaya n'eby'e Nafutaali, abantu n'abatwala mu Assiriya nga basibe.
30
Mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Yotamu mutabani wa Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Hoseya mutabani wa Ela, n'akola olukwe, n'afumita Peka mutabani wa Remaaliya, n'amutta, n'afuuka kabaka mu kifo kye.
31
N'ebirala byonna Peka bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
32
Mu mwaka ogwokubiri nga Peka mutabani Remaaliya ye kabaka wa Yisirayeli, Yotamu mutabani wa Azariya n'afuuka kabaka wa Buyudaaya,
33
nga wa myaka amakumi abiri mu ettaano, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. Nnyina yali Yerusa, muwala wa Zaddooki.
34
Yotamu n'akolanga ebirungi n'asanyusa Mukama nga Azariya kitaawe bye yakolanga.
35
Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu tebyaggyibwawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro n'okwoterezanga obubaane mu bifo ebyo. Yotamu n'azimba omulyango ogw'ekyengulu ogw'Essinzizo.
36
N'ebirala byonna Yotamu bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
37
Mu mulembe gwa Yotamu, Mukama mwe yatandikira okusindika Rezini kabaka wa Siriya ne Peka kabaka wa Yisirayeli era mutabani wa Remaaliya, ne balumba Buyudaaya.
38
Awo Yotamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Mutabani we Ahazi n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25