bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 7
2 Kings 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 8 →
1
Elisa n'agamba nti: “Muwulire Mukama ky'agamba. Mukama agamba nti: ‘Enkya mu budde nga buno, ekibbo ekimu eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi kijja kugula sekeli emu, n'ebibbo bibiri ebya bbaale nabyo bijja kugula sekeli emu.’ ”
2
Omukungu wa Kabaka amubeera ku lusegere n'addamu omusajja wa Katonda nti: “Kale Mukama ne bwe yanditonnyesezza enkuba amangwago, ekyo ekyenkanidde awo kisobola okubaawo?” Elisa n'addamu nti: “Ojja kukirabira ddala n'amaaso go nga kibaawo, naye ebyo tojja kubiryako.”
3
Ebweru wa wankaaki w'Ekibuga Samariya waaliwo abasajja abagenge bana. Ne bagambagana nti: “Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tunaafa?
4
Bwe tugamba nti: ‘Tuyingire mu kibuga,’ ekibuga kirimu enjala, ejja kututtirayo. Bwe tusigala wano, era tujja kufa. N'olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw'Abasiriya. Bwe banaatuleka nga tuli balamu, olwo tunaaba balamu. Bwe banaatutta, kale tunaafa.”
5
Bwe batyo ne basituka ng'obudde tebunnalaba, okugenda mu lusiisira lw'Abasiriya. Naye bwe baalutuukako, ne batasangayo muntu n'omu.
6
Mukama yali aleetedde Abassiriya okuwulira amaloboozi agali ng'ag'eggye eddene erijja n'embalaasi n'amagaali. Ne bagambagana nti: “Abange, kabaka wa Yisirayeli apangisizza bakabaka b'Abahiiti, n'ab'Abamisiri okujja okutulwanyisa!”
7
Kale ne basituka ne badduka okuwonya obulamu bwabwe, ne baleka awo ttayo eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, n'olusiisira lwonna nga bwe lwali.
8
Abagenge bwe baatuuka olusiisira we lutandikira, ne bayingira mu weema emu, ne balya ne banywa, ne baggyamu ffeeza ne zaabu n'ebyambalo ne bagenda ne babikweka. Ne bakomawo ne bayingira mu weema endala, ne baggyamu ebyalimu, nabyo ne bagenda ne babikweka.
9
Awo ne bagambagana nti: “Kye tukola si kituufu. Olwaleero lunaku lwa mawulire malungi, naye ffe tusirise nago. Bwe tunaalinda okutuusa obudde okukya tulyoke tugasaasaanye, tujja kubonerezebwa. N'olwekyo mujje tugende tubuulire abakungu ba Kabaka.”
10
Awo ne bagenda ne bakoowoola abaggazi b'ekibuga, ne babategeeza nti: “Tuyingidde mu lusiisira lw'Abasiriya, ne tutasangayo wadde okuwulirayo omuntu n'omu, naye waliyo mbalaasi na ndogoyi ezisibiddwa, n'eweema ezirekeddwa nga bwe zaabadde.”
11
Abaggazi ne balangirira amawulire ago, ne bagatuusa mu lubiri lwa kabaka munda.
12
Obudde bwali bukyali kiro, kabaka n'agolokoka, n'agamba abakungu be nti: “Ka mbabuulire Abassiriya kye baategese. Bamanyi ng'enjala etuli bubi. N'olwekyo baavudde mu lusiisira lwabwe okwekweka mu ttale nga bagamba nti: ‘Abayisirayeli bwe banaava mu kibuga, tunaabawamba nga balamu ne tuyingira ekibuga.’ ”
13
Omu ku bakungu be n'agamba nti: “Nkwegayiridde wabeewo abagendayo ku mbalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo mu kibuga. Bwe banaalama, banaaba kimu n'Abayisirayeli abalala bonna abasigadde mu kibuga. Bwe banaafiirayo, banaaba kimu n'Abayisirayeli abalala bonna abafudde. N'olwekyo tutumeyo tulabe.”
14
Ne baleeta amagaali abiri agasikibwa embalaasi, kabaka n'atuma abantu okulondoola eggye ly'Abassiriya, n'agamba nti: “Mugende mulabe ekiriyo.”
15
Ababaka ne bagenda okutuukira ddala ku Yorudaani, wonna mu kkubo ne basanga ebyambalo n'ebintu ebirala Abasiriya bye basudde nga badduka. Ne bakomawo ne babuulira Kabaka.
16
Abantu b'omu Samariya ne bagenda ne banyaga olusiisira lw'Abassiriya. Ekibbo ky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi ne kigula sekeli emu, n'ebibbo bibiri ebya bbaale ne bigula sekeli emu nga Mukama bwe yagamba.
17
Kabaka yali alonze omukungu we eyamubeeranga ku lusegere, ng'amutaddewo okulabirira wankaaki w'ekibuga. Abantu ne balinnyirira omukungu oyo ng'ali mu mulyango, n'afa, ng'omusajja wa Katonda bwe yalanga nga kabaka agenze gy'ali okumulaba.
18
Omusajja wa Katonda kye yagamba kabaka ne kituukirira nti: “Enkya mu budde nga buno, ku mulyango oguyingira mu Samariya, ebibbo bibiri ebya bbaale binaagula sekeli emu, n'ekibbo kimu eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi kinaagula sekeli emu.”
19
Omukungu n'addamu omusajja wa Katonda nti: “Mukama ne bwe yanditonnyesezza enkuba amangwago, ekyo ekyenkana awo kisobola okubaawo?” Elisa n'addamu nti: “Ojja kukirabira ddala n'amaaso go nga kibaawo, naye ebyo tojja kubiryako.”
20
Ekyo ne kituukirira ku ye, kubanga abantu baamulinnyirira ng'ali mu mulyango, n'afa.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25