bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 2
2 Kings 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 3 →
1
Awo ekiseera bwe kyatuuka Mukama okutwala Eliya mu ggulu, ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu, Eliya ne Elisa ne bava e Gilugaali.
2
Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Beteli.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, Mukama nga bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Ne bagenda e Beteli.
3
Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Beteli ne batuukirira Elisa ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo amutwale?” Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike!”
4
Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Elisa, nsaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye e Yeriko.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda e Yeriko.
5
Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko ne batuukirira Elisa, ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo, amutwale?” Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike.”
6
Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye ku Mugga Yorudaani.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Awo ne bagenda bombi,
7
ne bayimirira ku Yorudaani. Abasajja amakumi ataano ab'ekibiina ky'abalanzi nabo ne bagenda, ne bayimirira walako, ne babatunuulira.
8
Awo Eliya n'akwata omunagiro gwe, n'aguzinga wamu, n'agukozesa okukuba ku mazzi, amazzi ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, bombi ne bayita awakalu okugenda emitala w'eri.
9
Bwe baatuuka emitala w'eri, Eliya n'agamba Elisa nti: “Saba kye mba nkukolera nga sinnakuggyibwako.” Elisa n'addamu nti: “Nkwegayiridde kkiriza nfune emigabo ebiri egy'obuyinza bwo, nfuuke omusika wo.”
10
Eliya n'agamba nti: “Ky'osabye kizibu. Naye bw'onondaba nga nkuggyibwako, ng'okifunye. Naye bw'otondabe, olwo nga tokifunye.”
11
Bwe baali batambula nga banyumya, amangwago ne wajjawo eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne bibaawulamu bombi, Eliya n'atwalibwa mu ggulu ng'agendera mu mbuyaga ey'akazimu.
12
Elisa n'akiraba, n'agamba nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli, ogenze!” N'ataddamu kumulaba. Elisa n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri olw'okunakuwala.
13
N'alonda omunagiro gwa Eliya gw'asudde, n'addayo, n'ayimirira ku lubalama lw'Omugga Yorudaani.
14
N'akozesa omunagiro gwa Eliya okukuba ku mazzi ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Eliya aluwa? Yee ddala aluwa?” Bwe yakuba ku mazzi, ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, Elisa n'asomoka emitala w'eri.
15
Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko bwe baamulaba, ne bagamba nti: “Obuyinza bwa Eliya buli ku Elisa.” Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge,
16
ne bamugamba nti: “Tulina wano abasajja amakumi ataano ab'amaanyi, abaweereza bo. Tukwegayiridde bakkirize bagende banoonye mukama wo, oboolyawo Mwoyo wa Mukama yamusitudde n'amuteeka ku lusozi oba mu kiwonvu.” Elisa n'abaddamu nti: “Nedda. Temubatuma.”
17
Ne bongera okumwegayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata n'agamba nti: “Kale mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonyeza Eliya ennaku ssatu, kyokka ne batamulaba.
18
Ne bakomawo eri Elisa ng'akyalinda e Yeriko, n'abagamba nti: “Ssaabagamba nti temugenda?”
19
Awo abasajja abamu ab'omu kibuga Yeriko ne basemberera Elisa, ne bamugamba nti: “Ssebo, wano awali ekibuga kino walungi, naawe nga bw'olaba. Naye amazzi gaawo mabi, n'ettaka terikuza mmere.”
20
Elisa n'agamba nti: “Muteeke omunnyo mu kasumbi akapya mukandeetere wano.” Ne bakaleeta w'ali.
21
N'agenda awali ensulo z'amazzi, n'asuulamu omunnyo, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amazzi gano ngafudde amalamu. Mu go temukyaddamu kuvaamu lumbe wadde obutakuza mmere.’ ”
22
Okuva olwo amazzi ago ne gaba amalamu, nga Elisa bwe yagamba.
23
Awo Elisa n'ava e Yeriko, n'agenda e Beteli. Bwe yali ng'atambula mu kkubo, abavubuka abalalulalu ne bava mu kibuga ne bamusekerera nga bagamba nti: “Genda ggwe kawalaata, vva wano ggwe kawalaata!”
24
Elisa n'akyuka n'atunula emabega n'abalaba, n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo eddubu bbiri ne ziva mu kibira, ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo.
25
Awo Elisa n'avaayo n'alaga ku lusozi Karumeeli, oluvannyuma n'avaayo n'adda e Samariya.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25