bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 14
2 Kings 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 15 →
1
Mu mwaka ogwokubiri nga Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi ye kabaka wa Yisirayeli, Amaziya mutabani wa Yowaasi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
2
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina yali Yehoyaddini ow'e Yerusaalemu.
3
Amaziya n'akola ebyo ebisiimibwa Mukama. Kyokka yali teyenkana Dawudi jjajjaawe. Yakola ng'ebyo byonna Yowaasi kitaawe bye yakolanga.
4
Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, teyabiggyaawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro, n'okunyookerezanga obubaane mu bifo ebyo.
5
Awo Amaziya bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaweereza be abatta kitaawe, Ssekabaka Yowaasi.
6
Kyokka n'atatta baana baabwe, wabula n'agoberera ekyo ekyawandiikibwa mu Kitabo eky'Amateeka ga Musa, nga Mukama bwe yalagira nti: “Abazadde tebattibwenga lwa misango gya baana baabwe, n'abaana tebattibwenga lwa misango bazadde baabwe gye bazza. Omuntu anattibwanga lwa musango ye yennyini gwe yazza.”
7
Amaziya n'attira mu Kiwonvu ky'Omunnyo abaserikale Abeedomu omutwalo gumu, n'awamba ekibuga Sela mu lutalo, n'akituuma erinnya Yokuteeli, lye kikyayitibwa ne leero.
8
Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Kabaka Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi era muzzukulu wa Yeehu, bassekabaka ba Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu twolekaganye obwanga.”
9
Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'atumira Amaziya kabaka wa Buyudaaya ng'agamba nti: “Omwennyango ogwali ku lusozi Lebanooni gwatumira omuvule era ogwali ku Lebanooni, nga gugamba nti: ‘Mutabani wange muwe muwala wo amuwase.’ Ensolo ey'omu ttale ey'oku Lebanooni bwe yali eyitawo, n'erinnyirira omwennyango ogwo.
10
Kituufu owangudde Edomu, ekyo ne kikuleetera okwegulumiza. Kale beera ewuwo okyenyumiririzeemu. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Buyudaaya yonna?”
11
Kyokka Amaziya n'agaana okuwuliriza. Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'avaayo okulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Buyudaaya ne boolekaganyiza obwanga e Betisemesi ekya Buyudaaya.
12
Yisirayeli n'ewangula Buyudaaya, buli muserikale wa Buyudaaya n'adduka n'addayo ewaabwe.
13
Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba kabaka wa Buyudaaya, Amaziya mutabani wa Yowaasi era muzzukulu wa Ahaaziya. Yamuwambira Betisemesi, n'amuleeta e Yerusaalemu. Yehowaasi n'amenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu, okuva ku Mulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango ogw'oku Nsonda, bwe buwanvu bwa mita nga kikumi mu kinaana.
14
N'anyaga zaabu ne ffeeza yenna era n'ebintu byonna bye yasanga mu Ssinzizo, n'ebyobugagga eby'omu lubiri lwa kabaka, era n'abantu be yatwala ng'omusingo. N'addayo e Samariya.
15
N'ebirala byonna Yehowaasi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, ne bwe yalwanyisa Amaziya kabaka wa Buyudaaya byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
16
Yehowaasi n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Samariya mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli. Mutabani we Yerobowaamu n'amusikira ku bwakabaka.
17
Amaziya mutabani wa Yowaasi era kabaka wa Buyudaaya yawangaala emyaka kkumi n'etaano nga Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi era kabaka wa Yisirayeli amaze okukisa omukono.
18
N'ebirala byonna Amaziya bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
19
Ne wabaawo abaakola olukwe mu Yerusaalemu okutta Amaziya, Amaziya n'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza abantu okumulondoola e Lakisi, ne bamuttirayo.
20
Enjole ye ne bagireetera ku mbalaasi, ne bamuziika mu Yerusaalemu we baaziika bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi.
21
Abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne balonda Azariya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamufuula kabaka okusikira Amaziya kitaawe.
22
Azariya n'azza Ekibuga Elati eri Buyudaaya era n'akizimba buggya, nga kitaawe amaze okukisa omukono n'okwegatta ku bajjajjaabe.
23
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano nga Amaziya mutabani wa Yowaasi ye kabaka wa Buyudaaya, Yerobowaamu mutabani wa Yehowaasi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka amakumi ana mu gumu.
24
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
25
Yawangula n'azzaayo ensalo ya Yisirayeli okuva Awayingirirwa mu Hamati okutuuka ku Nnyanja Enfu, nga Mukama Katonda wa Yisirayeli bwe yagamba ng'ayita mu muweereza we, Omulanzi Yona mutabani wa Amittayi, ow'e Gaati Heferi.
26
Mukama n'alaba ng'Abayisirayeli babonaabona nnyo, era nga tewali n'omu wa kubayamba wadde omuto oba omukulu.
27
Kyokka Mukama yali tayagala kusaanyaawo Bayisirayeli ku nsi. Kale n'abawonya ng'ayita mu Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi.
28
N'ebirala byonna Yerobowaamu bye yakola, n'entalo ze ez'obuzira mwe yakomerezaawo Yisirayeli ebibuga Damasiko ne Hamati ebyali ebya Buyudaaya, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
29
Yerobowaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe bassekabaka ba Yisirayeli, mutabani we Zekariya n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25