bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 18
2 Kings 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 19 →
1
Mu mwaka ogwokusatu nga Hoseya mutabani wa Ela ye kabaka wa Yisirayeli, Heezeekiya mutabani wa Ahazi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya,
2
nga wa myaka amakumi abiri mu etaano, n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Abiya, muwala wa Zekariya.
3
N'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama, ng'ebyo byonna Dawudi jjajjaawe bye yakolanga.
4
N'aggyawo ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ayasaayasa empagi ez'amayinja, n'amenyaamenya ebifaananyi bya lubaale omukazi Asera. N'amenyaamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola, kubanga n'okutuusa mu biro ebyo, Abayisirayeli baali bagunyookeza obubaane. N'aguyita kikomo bukomo.
5
Heezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ne wataba n'omu amwenkana mu bakabaka bonna aba Buyudaaya abaamusooka n'abaamuddirira.
6
Yanywerera ku Mukama, n'atamuvaako n'akatono, era n'akwata ebiragiro Mukama bye yalagira Musa.
7
Mukama n'abeeranga naye, n'abanga wa mukisa mu byonna bye yakolanga. N'ajeemera kabaka wa Assiriya, n'agaana okumugonderanga.
8
N'awangula Abafilistiya okubatuusa e Gaaza n'ebitundu ebikyetoolodde nga mw'otwalidde ebibuga ebinene n'ebitono.
9
Mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa Heezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu nga Hoseya mutabani wa Ela ye kabaka wa Yisirayeli, Salumaneseri kabaka wa Assiriya n'alumba Ekibuga Samariya, n'akizingiza.
10
Emyaka esatu bwe gyayitawo nga kizingiziddwa, ne kiwangulwa, gwe gwali omwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Heezeekiya, ate nga gwe gw'omwenda ogw'obufuzi bwa Hoseya, kabaka wa Yisirayeli.
11
Kabaka wa Assiriya n'atwala ab'omu Yisirayeli mu Assiriya, abamu n'abatwala mu Kibuga Hala, abalala mu kitundu ky'e Gozani okumpi n'Omugga Habori, n'abalala mu bibuga by'Abameedi.
12
Samariya kyawangulwa kubanga ab'omu Yisirayeli tebaagondera Mukama, Katonda waabwe, wabula baamenya endagaano gye yakola nabo, ne bajeemera byonna Musa omuweereza we bye yalagira, ne batakkiriza kubiwuliriza, wadde okubituukiriza.
13
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogw'obufuzi bwa kabaka Heezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula.
14
Awo Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya n'atumira kabaka wa Assiriya eyali e Lakisi mu kiseera ekyo. Mu bubaka bwe, n'agamba nti: “Nnyonoonye. Ddayo oleme kunnumba. By'ononsalira, nnaabiwa.” Kabaka wa Assiriya n'asalira Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya ffeeza talanta ebikumi bisatu, ne zaabu talanta amakumi asatu.
15
Heezeekiya n'amuwa ffeeza yenna eyali mu Ssinzizo, ne mu ggwanika ly'olubiri lwa kabaka.
16
Mu kiseera ekyo, Heezeekiya n'abembula ne zaabu ku nzigi z'Essinzizo, ne ku mpagi zaamu, ye yennyini kabaka Heezeekiya gwe yali abisseeko, n'amuwa kabaka wa Assiriya.
17
Awo kabaka wa Assiriya ng'ali e Lakisi, n'asindika eggye ddene okulumba Heezeekiya e Yerusaalemu. Lyali likulirwa abakungu be basatu ab'oku ntikko. Bwe baatuuka e Yerusaalemu, ne bayimirira ku mukutu oguleeta amazzi okuva mu kidiba eky'ekyengulu, ekiri ku luguudo olugenda ku ggyolezo ly'engoye.
18
Awo ne batumya kabaka. Abakungu ne bagenda okubasisinkana: Eliyakimu, mutabani wa Hilukiya, eyali alabirira olubiri; Sebuna, omuwandiisi mu lubiri; ne Yoowa, mutabani wa Asafu, eyali omukuumi w'ebiwandiiko.
19
Omu ku bakungu Abassiriya n'abagamba nti: “Mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya, akubuuza nti, kiki kye weesiga?
20
Okwogera obwogezi kwe kunadda mu kifo ky'amagezi n'amaanyi ag'okulwana olutalo? Ani kale gwe weesiga n'okutuuka n'okunjeemera?
21
Laba Misiri gwe weesiga, lwe lumuli olwatifu, olufumita ekibatu ky'oyo alwesimbaggirizaako ng'omuggo. Bw'atyo Kabaka w'e Misiri bw'ali ku bonna abamwesiga.’
22
“Naye bwe muŋŋamba nti: ‘Twesiga Mukama, Katonda waffe.’ Mukama si ye wuuyo Heezeekiya gw'aggyiddewo ebifo bye ebigulumivu bye bamusinzizaamu, era ne zaalutaari ze, Heezeekiya oyo n'agamba abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari y'omu Yerusaalemu yokka?’
23
Kale kaakano ka mbasoomoze ku lwa mukama wange kabaka wa Assiriya: nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe bw'onooyinza okuzuulayo abazeebagala.
24
Ggwe atasobola kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obuto mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi!
25
Olowooza nga nalumba ekifo kino okukizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti: ‘Lumba ensi eyo ogizikirize.’ ”
26
Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya, ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulutegeera, naye toyogera naffe mu Lwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.”
27
Omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange yantuma kubuulira mukama wammwe nammwe mwekka ebigambo bino? Yantuma kubuulira n'abasajja abatuula ku ntikko y'ekigo, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.”
28
Awo omukungu oyo n'ayimirira, n'alangirira mu lulimi lw'Abayudaaya n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Muwulire kabaka omukulu kabaka wa Assiriya ky'abagamba.
29
Abalabula nti Heezeekiya aleme kubalimbalimba, kubanga tayinza kubawonya mmwe kubaggya mu mikono gyange.
30
Era aleme kubasendasenda kwesiga Mukama, ng'agamba nti: ‘Mukama ajja kutuwonya, n'ekibuga kino tekiiweebweyo mu mikono gya kabaka wa Assiriya.’
31
Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mweweeyo gye ndi.’ Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye, n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe,
32
okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi erimu eŋŋaano n'omwenge, ensi erimu emigaati n'ennimiro z'emizabbibu, ensi erimu omuzigo gw'emizayiti n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme kufa. Naye temuwuliriza Heezeekiya abaguyaaguya ng'agamba nti: ‘Mukama ajja kutuwonya!’
33
Waliwo lubaale n'omu mu balubaale b'amawanga eyali asobodde okuwonya ensi ye n'agiggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya?
34
Bali ludda wa balubaale b'e Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu, wadde ab'e Hena, n'ab'e Yivva? Baawonya Samariya ne bakiggya mu mikono gyange?
35
Baani ku balubaale bonna ab'ensi abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu akiggye mu mikono gyange?”
36
Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo kubanga kabaka yali abalagidde nti: “Temubaako kye mumuddamu.”
37
Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25