bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 8
2 Kings 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 9 →
1
Elisa yali agambye omukazi Omusunammu gwe yazuukiriza omwana we nti: “Situka ogende, ggwe n'ab'omu maka go, obeeko awalala gy'oyinza okugira ng'okyabeera, kubanga Mukama asindise enjala ebe ku nsi, okumala emyaka musanvu.”
2
Omukazi n'asituka, n'akola ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba. N'agenda n'ab'omu maka ge bonna, n'abeera mu nsi y'Abafilistiya okumala emyaka musanvu.
3
Emyaka egyo omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'ava mu nsi y'Abafilistiya, n'akomawo mu Yisirayeli. N'agenda eri kabaka okusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye.
4
Yasanga kabaka ayogera ne Gehazi omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda, ng'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Elisa bye yakola.”
5
Gehazi bwe yali abuulira kabaka nga Elisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Elisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gehazi n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, omukazi ye ono, era ono ye mwana we, Elisa gwe yazuukiza!”
6
Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti: “Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibanja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo.”
7
Awo Elisa n'ajja e Damasiko nga Benihadadi Kabaka w'e Siriya alwadde. Ne babuulira Benihadadi nti: “Omusajja wa Katonda azze kuno.”
8
Kabaka n'agamba Hazayeeli nti: “Twala ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, oyite mu ye weebuuze ku Mukama oba nga nnaawona obulwadde buno.”
9
Awo Hazayeeli n'agenda okusisinkana Elisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Damasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamiya amakumi ana. Bwe yatuuka awali Elisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti: “Omwana wo Benihadadi, kabaka wa Siriya antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma.”
10
Elisa n'amuddamu nti: “Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma, kyokka Mukama andaze nti ddala ajja kufa.”
11
Awo Elisa n'atunuulira Hazayeeli enkaliriza, okutuusa Hazayeeli ensonyi lwe zaamukwata. Elisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga.
12
Hazayeeli n'amubuuza nti: “Mukama wange, okaabira ki amaziga?” Elisa n'addamu nti: “Kubanga mmanyi eby'akabi by'olikola Abayisirayeli. Ebigo byabwe ebigumu olibyokya omuliro, olitta abavubuka baabwe mu lutalo, era olibaaga bakazi baabwe abali embuto.”
13
Hazayeeli n'abuuza nti: “Omuweereza wo ataliiko bwe ndi, ndikola ntya ebyo ebyenkanidde awo?” Elisa n'addamu nti: “Mukama andaze nti oliba kabaka wa Siriya.”
14
Awo Hazayeeli n'ava awali Elisa, n'addayo eri Benihadadi mukama we. Benihadadi n'amubuuza nti: “Elisa akugambye ki?” Hazayeeli n'addamu nti: “Aŋŋambye nti ddala ojja kussuuka.”
15
Kyokka enkeera Hazayeeli n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi, n'agimuzibikiza ennyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Hazayeeli n'afuuka kabaka mu kifo kye.
16
Mu mwaka ogwokutaano nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, ne Yehosafaati nga ye kabaka wa Buyudaaya, mu kiseera ekyo, Yehoraamu mutabani wa Yehosafaati oyo, n'afuuka kabaka wa Buyudaaya
17
nga wa myaka amakumi asatu mu ebiri, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemu.
18
Yawasa muwala wa Ahabu, era ng'ab'ennyumba ya Ahabu bwe baakola, n'agoberera empisa embi eza bakabaka ba Yisirayeli ng'akola ebibi, n'anyiiza Mukama.
19
Kyokka Mukama n'atayagala kuzikiriza Buyudaaya, kubanga yasuubiza omuweereza we Dawudi ng'ab'ezzadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna.
20
Ku mulembe gwa Yehoraamu, Abeedomu ne bajeemera Buyudaaya, ne beeteerawo obwakabaka obwabwe.
21
Yehoraamu n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna. Eggye ly'Abeedomu ne limuzingiza. Ekiro, ye n'abaduumizi b'amagaali ge ne basobola okuwaguza, abaserikale be ne badduka, buli omu n'adda gy'abeera.
22
Edomu n'ejeemera Buyudaaya n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema.
23
N'ebirala byonna Yehoraamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
24
Yehoraamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Ahaaziya n'amusikira ku bwakabaka.
25
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga Yoraamu mutabani wa Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu n'afuuka kabaka wa Buyudaaya
26
nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri, n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Ataliya muwala wa Ahabu era muzzukulu wa Kabaka Omuri owa Yisirayeli.
27
Ahaaziya nga bwe yali omujjwa mu nnyumba ya Ahabu, yagoberera empisa embi ez'ab'ennyumba eyo, n'akola ebibi nga bo bye baakolanga, n'anyiiza Mukama.
28
Kabaka Ahaaziya n'agenda ne Kabaka Yoraamu owa Yisirayeli mu lutalo okulwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya, olutalo ne lukwajjira e Ramoti Gileyaadi. Abassiriya ne bafumita Yoraamu ebiwundu.
29
Awo Kabaka Yoraamu n'akomawo e Yezireeli amale okussuuka ebiwundu Abassiriya bye baamufumitira e Raama ng'alwanyisa Hazayeeli kabaka wa Siriya. Kabaka Ahaaziya mutabani wa Yehoraamu kabaka wa Buyudaaya n'agendayo okumulaba obulwadde.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25