bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 11
2 Kings 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 12 →
1
Awo Ataliya nnyina Kabaka Ahaaziya bwe yalaba nga mutabani we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza bonna ab'olulyo olulangira.
2
Naye Yehoseba muwala wa Kabaka Yoraamu era mwannyina Ahaaziya, n'awonyaawo mu bubba Yowaasi omu ku batabani ba Ahaaziya, ng'amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n'amukweka wamu n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu, bw'atyo n'amuwonya okuttibwa Ataliya.
3
Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu Ssinzizo okumala emyaka mukaaga, nga Ataliya ye afuga eggwanga.
4
Awo mu mwaka ogw'omusanvu, Yehoyaada kabona n'atumya abaduumizi b'ekikumi kikumi eky'abakuumi ba kabaka abayitibwa Abakoriti, n'atumya n'abakulira abakuumi b'olubiri, n'abayita ne bajja gy'ali mu Ssinzizo, n'akola nabo endagaano ng'abalayiza okutuukiriza ky'ategese okukola. N'abanjulira mutabani wa kabaka, Omulangira Yowaasi,
5
n'abalagira nti: “Kino kye muba mukola: bwe munajja okukuuma mu mpalo zammwe ku Sabbaato, ekimu ekyokusatu ku mmwe banaakuuma olubiri lwa kabaka,
6
n'ekimu ekyokusatu, banaaba ku mulyango Suuri, era n'ekimu ekyokusatu banaaba ku mulyango oguli emabega w'ekifo ky'abakuumi. Bwe mutyo bwe munaakuuma olubiri lwa kabaka, mube olukomera.
7
Ab'ebibinja ebibiri abamazeeko empalo zaabwe ku Sabbaato, banaakuuma Essinzizo nga beetoolodde kabaka.
8
Munaayimirira nga mwetoolodde kabaka enjuyi zonna, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye. Buli anaayingira mu nnyiriri zammwe wa kuttibwa. Munaabeera wamu ne kabaka buli w'anaagenda.”
9
Abaduumizi b'ekikumi kikumi ne bakola byonna Yehoyaada kabona bye yalagira: buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku mulimu ku Sabbaato. Ne bajja eri Yehoyaada kabona.
10
Awo Yehoyaada kabona n'awa abaduumizi b'ekikumi kikumi amafumu n'engabo ebya Kabaka Dawudi, ebyali mu Ssinzizo.
11
Abakuumi ne bayimirira buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, okwetooloola kabaka enjuyi zonna, okuva ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, okutuuka ku ludda lwalyo olwa kkono, wakati wa alutaari, n'Essinzizo.
12
Awo Yehoyaada n'afulumya omulangira, n'amutikkira engule ey'obwakabaka, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu Amateeka. Yowaasi ne bamufukako omuzigo, ne bamufuula kabaka, ne bakuba mu ngalo nga bwe bagamba nti: “Kabaka awangaale!”
13
Ataliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abakuumi n'olw'abantu abalala, n'ajja mu Ssinzizo abantu gye baali bakuŋŋaanidde.
14
Bwe yatuukayo bw'ati, n'alaba kabaka gwe baali baakateekako, ng'ayimiridde awali empagi, awayimirirwa kabaka ng'empisa bwe yali, ng'abakungu n'abafuuyi b'amakondeere bamuli kumpi. Ne bannansi bonna baali basanyuka era nga bafuuwa amakondeere. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, nga bw'agamba nti: “Mundiddemu olukwe! Mundiddemu olukwe!”
15
Yehoyaada kabona teyayagala Ataliya kuttirwa mu bitundu bya Ssinzizo, kyeyava alagira abaduumizi b'abaserikale ekikuumi kikumi nti: “Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri z'abaserikale. Buli anaamugoberera ng'agezaako okumutaasa, mumutte.”
16
Ne bakwata Ataliya ne bamutwala ku mulyango embalaasi we ziyingirira mu lubiri lwa kabaka, ne bamuttira eyo.
17
Yehoyaada kabona n'akkirizisa kabaka n'abantu, okukola endagaano ne Mukama, ekakasa nti banaabanga bantu ba Mukama, era n'endagaano ekakasa nti wanaabangawo enkolagana ennungi wakati wa kabaka n'abantu.
18
Abantu bonna ab'omu ggwanga ne bayingira mu ssabo lya Baali, ne balimenyaamenya, ne bamenyerawo ddala alutaari ze n'ebifaananyi bye. Mattani kabona we ne bamuttira mu maaso ga zaalutaari. Yehoyaada kabona n'assaawo abakuumi okukuumanga Essinzizo.
19
Awo ye, n'abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abakuumi b'olubiri, ne bannansi bonna, ne baggya kabaka mu Ssinzizo ne bamutwala mu lubiri nga bayita mu Mulyango gw'Abakuumi, n'atuula ku ntebe y'obwakabaka.
20
Awo bannansi bonna ne basanyuka, ekibuga ne kitereera, nga Ataliya amaze okuttibwa. Ataliya yattirwa mu lubiri lwa kabaka.
21
Yowaasi yafuuka kabaka nga wa myaka musanvu.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25