bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 22
2 Kings 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 23 →
1
Yosiya yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yedida, muwala wa Adaya ow'e Bozukati.
2
Yosiya n'akolanga ebyo Mukama by'asiima n'aba n'empisa ng'eza Dawudi jjajjaawe, n'atakyukakyuka kudda eno n'eri.
3
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, kabaka oyo Yosiya n'atuma omuwandiisi we Saafani, mutabani wa Azaliya era muzzukulu wa Mesullamu, agende mu Ssinzizo, ng'amulagidde nti:
4
“Genda eri Ssaabakabona Hilukiya, omugambe abale ensimbi ezireeteddwa mu Ssinzizo, abagguzi ze baakasolooza ku bantu.
5
Baziwe abasajja abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo,
6
basasule ababazzi n'abazimbi, n'abakomozi b'amayinja, era bagule embaawo n'amayinja amakomole okuddaabiriza Essinzizo.
7
Naye ensimbi ezibakwasiddwa, tekyetaagisa kuzibalirira muwendo, kubanga bakola na bwesigwa.”
8
Awo Hilukiya Ssaabakabona n'agamba Saafani omuwandiisi nti: “Nzudde Ekitabo ky'Amateeka mu Ssinzizo.” Awo n'akiwa Saafani n'akisoma.
9
Saafani omuwandiisi n'addayo eri kabaka, n'amutegeeza nti: “Abaweereza bo baggyeeyo ensimbi zonna ezisangiddwa mu Ssinzizo ne bazikwasa abasajja abakola omulimu ogw'okuddaabiriza.”
10
Awo Saafani omuwandiisi n'agamba kabaka nti: “Hilukiya kabona ampadde ekitabo.” N'akisomeramu kabaka.
11
Awo kabaka bwe yawulira ebigambo eby'omu Kitabo ky'Amateeka, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala.
12
N'alagira Hilukiya kabona, ne Ahikaamu mutabani wa Saafani, ne Akuboori mutabani wa Mikaaya, ne Saafani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka ow'oku lusegere, ng'abagamba nti:
13
“Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Buyudaaya, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole.”
14
Awo Hilukiya kabona ne Ahikaamu ne Akuboori ne Saafani ne Asaya ne bagenda eri Huluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tikuva, era muzzukulu wa Harukasi, omukuumi w'etterekero ly'ebyambalo. Omukazi oyo yabeeranga mu kitundu ekipya ekya Yerusaalemu. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
15
N'abagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Omuntu abatumye gye ndi mumugambe nti:
16
Mukama agamba nti: Akabi konna akoogerwako mu kitabo kino kabaka wa Buyudaaya ky'asomye, nja kukatuusa ku kifo kino, ne ku bakibeeramu.
17
Nga bwe banvuddeko, ne bootereza balubaale obubaane, ne bansunguwaza n'ebyo byonna bye bakoze, obusungu bwange kyebuliva bukoleera ku kifo kino, era tebulizikira.
18
Era kabaka wa Buyudaaya, abatumye okubuuza Mukama, mumugambe nti: Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti: ku bigambo by'owulidde,
19
omutima gwo nga bwe gubadde omugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo olw'okunakuwala, era n'okaaba amaziga bw'owulidde ebigambo bye nayogera ku kifo kino ne ku abo abalikibeeramu, nga balizikirira ne bajulirwa mu kukolima, kale nkuwulidde.
20
Ndikutwala eri bajjajjaabo n'oziikibwa mirembe, era toliraba ku kabi ke ndituusa ku kifo kino.’ ” Ne baddayo, ne babuulira kabaka ebigambo ebyo.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25