bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 23
2 Kings 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 24 →
1
Awo Kabaka Yosiya n'atumya abakulembeze bonna aba Buyudaaya n'aba Yerusaalemu, ne bakuŋŋaanira w'ali.
2
N'agenda nabo mu Ssinzizo, awamu n'abasajja bonna ab'omu Buyudaaya, ne bonna ababeera mu Yerusaalemu, ne bakabona, n'abalanzi, n'abantu abalala bonna abakulu n'abato. N'asoma nga bawulira ebigambo by'omu Kitabo eky'Endagaano ekyazuulibwa mu Ssinzizo.
3
Kabaka n'ayimirira kumpi n'empagi, n'akola endagaano mu maaso ga Mukama, okumuwuliranga n'okukwatanga amateeka ge n'ebiragiro bye, ne bye yakuutira, n'alagaanya nti anaabikwatanga n'omutima gwe gwonna, n'emmeeme ye yonna, era anaatuukirizanga ebigambo by'endagaano eyo, nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ekyo. Abantu bonna ne bayimirira okukakasa nga banaakuumanga endagaano eyo.
4
Awo Kabaka Yosiya n'alagira Hilukiya Ssaabakabona, ne bakabona abamuddirira, n'abaggazi b'e Ssinzizo, okufulumya mu Ssinzizo ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kusinza Baali ne lubaale omukazi Asera, ne mu kusinza ebyakira ku ggulu byonna. Kabaka n'abyokera ebweru wa Yerusaalemu, mu ttale ly'omu Kiwonvu Kidurooni, evvu lyabyo ne litwalibwa e Beteli.
5
N'aggyawo bakabona abasinza ebitali Katonda, bakabaka ba Buyudaaya abaamusooka be baateekawo okunyookezanga obubaane ku bifo ebigulumivu bye basinzizaamu, ebyali mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemu, era n'abo abaanyookezanga obubaane eri Baali, n'enjuba, n'omwezi, n'emmunyeenye, n'ebirala byonna ebiri ku ggulu.
6
N'aggya ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera mu Ssinzizo, n'akitwala ebweru wa Yerusaalemu, ku Kagga Kidurooni, n'akyokerayo, n'akisekulasekula, n'akifuula olusennyente, n'amansa olusennyente olwo mu kifo ekiziikibwamu abafu ekyalukale.
7
N'amenyerawo ddala ebisulo by'abasajja abaakolanga eby'obukaba ku basajja bannaabwe. Ebisulo ebyo byali mu Ssinzizo, era mu byo abakazi mwe baalukiranga ebitimbirwa lubaale omukazi Asera.
8
N'aleeta mu Yerusaalemu bakabona bonna abaali mu bibuga bya Buyudaaya, n'ayonoona mu ggwanga lyonna ebifo byonna ebigulumivu bye baasinzizangamu, era bakabona mwe baanyookerezanga obubaane mu ggwanga lyonna, okuva e Geba okutuuka e Beruseba. Era n'azikiriza ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ebyali okumpi n'awayingirirwa mu Mulyango gwa Yoswa, omukulu w'ekibuga ekyali ku mukono ogwa kkono omuntu ng'ayingira mu Wankaaki w'Ekibuga Yerusaalemu.
9
Kyokka bakabona abo abaakoleranga mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne batakkirizibwa kuweereza mu Ssinzizo mu Yerusaalemu, naye baayinzanga okulya ku migaati egitazimbulukusiddwa egiweereddwa bakabona bannaabwe.
10
Kabaka Yosiya era n'ayonoona Tofeti, ekifo mu Kiwonvu ky'Abahinnomu, walemenga kubaawo n'omu ayokerayo mutabani we oba muwala we okuba ekiweebwayo eri Lubaale Moleki, ekyokebwa nga kiramba.
11
N'aggyawo embalaasi, bakabaka ba Buyudaaya abaamusooka ze baali bawongedde enjuba, n'ayokya amagaali gaayo agaali mu luggya okumpi n'awayingirirwa mu Ssinzizo okuliraana n'ekisenge kya Natani-Meleki omulaawe.
12
Zaalutaari bakabaka ba Buyudaaya ze baali bakoze waggulu wa kalinaabiri ya Ahazi, Kabaka Yosiya n'azimenyawo awamu ne zaalutaari ezaazimbibwa Kabaka Manasse mu mpya zombi ez'Essinzizo. N'azikoonakoona, n'azimenyaamenya, ebitundutundu byazo n'abisuula mu Kagga Kidurooni.
13
Kabaka Yosiya n'ajaajaamya n'ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu ebyolekera Yerusaalemu ebyali obukiikaddyo obw'olusozi olw'Obwonoonefu, Solomooni kabaka wa Yisirayeli bye yazimbira ebifaananyi ebyenyinyalwa: ekya Asera, lubaale omukazi ow'Abasidoni, ekya Kemosi, lubaale wa Mowaabu, n'ekya Milukomu, lubaale owa Ammoni eyeenyinyalwa.
14
N'ayasaayasa empagi ez'amayinja, n'atemaatema n'ebifaananyi bya Asera, ebifo byabyo n'abijjuzaamu amagumba g'abafu.
15
Kabaka Yosiya n'amenyawo ne alutaari eyali e Beteli era n'ekifo ekigulumivu kye baasinzizangamu ekyazimbibwa Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, eyaleetera Yisirayeli okwonoona. Yosiya n'amenyawo alutaari eyo era n'ekifo ekyo ekigulumivu kye baasinzizangamu, n'abyokya, n'abisambirira, n'abifuula olusennyente, n'ayokya n'ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera.
16
Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n'alaba amalaalo agaali awo ku lusozi, n'alagira ne baggyamu amagumba n'agookera ku alutaari n'agyonoona nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu mulanzi we, eyalanga ebiribaawo mu kifo ekyo.
17
Awo kabaka n'abuuza nti: “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abantu ab'omu kibuga ekyo ne bamubuulira nti: “Ago ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya, n'alanga ebintu ebyo by'okoze ku alutaari eno ey'e Beteli.”
18
Kabaka Yosiya n'alagira nti “Oyo mumuleke, amagumba ge waleme kubaawo agasimulayo.” Ne baleka amagumba ge, era n'amagumba g'omulanzi eyava e Samariya.
19
Amasabo gonna ag'omu bifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samariya, bassekabaka ba Yisirayeli ge baali bazimbye ne basunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo, n'agakolako byonna nga bye yakola e Beteli.
20
Bakabona bonna abaakoleranga mu bifo ebigulumivu abantu bye baasinzizangamu, n'abattira ku zaalutaari, era zaalutaari ezo n'azookerako amagumba g'abafu, n'alyoka addayo e Yerusaalemu.
21
Awo Kabaka Yosiya n'alagira abantu nti: “Mukolere Mukama, Katonda wammwe, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga bwe kyawandiikibwa mu Kitabo eky'Endagaano.”
22
Okuviira ddala ku mirembe gy'Abalamuzi abaafuga Yisirayeli, waali tewabangawo Mbaga Ejjuukirirwako Kuyitako yenkana awo, newaakubadde mu mirembe gya bassekabaka ba Yisirayeli, wadde mu gya bassekabaka ba Buyudaaya.
23
Naye mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana nga Yosiya ye Kabaka, Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako n'ekolerwa Mukama mu Yerusaalemu.
24
Yosiya era n'aggyawo mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, abasamize, n'abalogo, ne balubaale ab'omu maka, n'ebifaananyi abantu bye basinza, n'ebintu ebirala byonna ebyenyinyalwa, alyoke anyweze eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo, Hilukiya kabona kye yazuula mu Ssinzizo.
25
Yosiya oyo, mu bakabaka bonna abaamukulembera, tewali n'omu eyamwenkana mu kukyukira Mukama n'omutima gwe gwonna, n'omwoyo gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna, ng'atuukiriza ebiri mu Mateeka ga Musa gonna, era ne mu baamuddirira tewali yasinga ye.
26
Kyokka era Mukama n'atalekaayo kusunguwalira nnyo Buyudaaya olw'ebyo Manasse bye yakola okumusunguwaza.
27
Mukama n'agamba nti: “Ndiggyawo Buyudaaya mu maaso gange, nga bwe naggyawo Yisirayeli. Ndiboola ekibuga kino Yerusaalemu kye neeroboza, era n'Essinzizo lye nayogerako nti mwe banansinzizanga.”
28
N'ebirala byonna Kabaka Yosiya bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya bassekabaka ba Buyudaaya.
29
Mu mirembe gye, Faraawo Neeko Kabaka w'e Misiri n'ajja n'eggye okuyamba kabaka wa Assiriya ku Mugga Ewufuraate. Kabaka Yosiya n'agenda okumulwanyisa. Neeko bwe yalaba Yosiya, n'amuttira e Megiddo.
30
Abaweereza be ne bamuteeka mu ggaali ng'afudde, ne bamuggya e Megiddo, ne bamutwala e Yerusaalemu, ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu b'omu Buyudaaya ne balonda Yehoyahaazi mutabani we, ne bamufukako omuzigo, ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe.
31
Yehoyahaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu we yafuukira kabaka, n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hamutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
32
N'akola ebitasiimibwa Mukama nga bajjajjaabe bye baakola.
33
Neeko kabaka w'e Misiri n'amusibira e Ribula mu nsi ya Hamati, aleme okufuga mu Yerusaalemu. N'asalira Buyudaaya omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza ne talanta emu eya zaabu.
34
Kabaka Neeko oyo n'alonda Eliyakimu mutabani wa Yosiya n'amufuula kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'akyusa erinnya lya Eliyakimu, n'amutuuma Yehoyakiimu. Neeko n'atwala Yehoyahaazi e Misiri, Yehoyahaazi n'afiira eyo.
35
Kabaka Yehoyakiimu n'asolooza ffeeza ne zaabu ku bantu b'omu nsi ye okusinziira ku nfuna yaabwe, alyoke aweze omuwendo gw'ensimbi ez'omusolo kabaka w'e Misiri gwe yamulagira okusasula.
36
Yehoyakiimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, n'afugira mu Yerusaalemu emyaka kkumi na gumu. Nnyina yali Zebida, muwala wa Pedaaya ow'e Ruuma.
37
Yehoyakiimu n'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'ebyo byonna bajjajjaabe bye baakola.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25