bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 19
2 Kings 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 20 →
1
Awo Kabaka Heezeekiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala ebikutiya, n'ayingira mu Ssinzizo.
2
N'atuma Eliyakimu eyali alabirira olubiri lwa kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n'abamu ku bakabona abakulu, eri Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi.
3
Ne bamugamba nti: “Heezeekiya agamba nti: ‘Olunaku luno, lunaku lwa kubonaabona. Tubonerezeddwa era tuswaziddwa. Tuli ng'omukazi atuusizza okuzaala, sso nga talina maanyi ga kuzaala.
4
Kabaka wa Assiriya atumye omukungu we omukulu okujerega Katonda Nnannyinibulamu. Oboolyawo Mukama, Katonda wo, anassaayo omwoyo ku bigambo byonna omukungu oyo by'ayogedde, n'amukangavvula olw'ebigambo ebyo, Ye Mukama Katonda by'awulidde.’ ”
5
Abakungu ba Kabaka Heezeekiya bwe baatuusa obubaka bwe eri Yisaaya,
6
Yisaaya n'abagamba bagende bagambe mukama waabwe nti: Mugende mugambe mukama wammwe nti: “Mukama agamba nti: ‘Totya bigambo by'owulidde, abakungu ba kabaka w'e Assiriya bye boogedde nga banzivoola.
7
Laba, nja kumukyusa omutima. Ajja kuwulira olugambo, addeyo mu nsi ye, era Nze nja kumuleetera okuttirwayo.’ ”
8
Awo omukungu oyo Omussiriya n'awulira nga kabaka w'ewaabwe avudde e Lakisi, era ng'alwanyisa ab'omu Kibuga Libuna, n'agenda gy'ali.
9
Kabaka wa Assiriya bwe baamubuulira nti: “Tiraka kabaka w'e Etiyopiya wuuli asitudde eggye okukulwanyisa,” n'addamu okutumira Heezeekiya ng'agamba nti:
10
“Mugende mugambe Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemu tekirigabulwa mu mikono gya kabaka w'e Assiriya.
11
Ndowooza wawulira bakabaka b'e Assiriya kye baakola ensi zonna, ze baasalawo okuzikiririza ddala. Ggwe onoowona?
12
Bajjajjange baazikiriza ebibuga Gozani, ne Harani, ne Rezefu, ne batta Abeedeni abaali mu Telassaari. Waliwo ku balubaale baabwe eyasobola okubawonya?
13
Bakabaka bali ludda wa ab'omu bibuga Hamati ne Arupaadi, ne Sefarivayimu, wadde ow'e Hera n'ow'e Yivva?’ ”
14
Awo Heezeekiya n'aggya ebbaluwa ku babaka, n'agisoma. N'ayambuka mu Ssinzizo, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama,
15
n'asaba Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, atuula ku bakerubi, Ggwe Katonda wekka. Ggwe wekka Ggwe ofuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe watonda eggulu n'ensi.
16
Kaakano ayi Mukama, laba ebitutuuseeko. Wulira ebigambo ebyo, Sennakeribu by'aweerezza okukuvuma Ggwe Katonda Nnannyinibulamu.
17
Kyo kituufu, ayi Mukama, bakabaka ba Assiriya baazikiriza amawanga mangi, ensi zaago ne bazifuula matongo.
18
Baayokya balubaale baago, ddala abatali Katonda, wabula ebifaananyi eby'emiti n'eby'amayinja, abantu bye baakola n'emikono gyabwe, kyebaava babazikiriza.
19
Kale nno, ayi Mukama, Katonda waffe, ggwe tuwonye otuggye mu mikono gy'Abassiriya, ab'amawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Ggwe, ayi Mukama, Ggwe Katonda wekka.”
20
Awo Yisaaya mutabani wa Amozi n'atumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Mpulidde by'onsabye ebikwata ku Sennakeribu kabaka wa Assiriya.
21
Kino nze Mukama kye ŋŋamba ku ye nti: Ekibuga Siyooni kikunyoomye ggwe, Sennakeribu, era kikusekeredde! Ekibuga Yerusaalemu kikukongodde!
22
Olowooza ani gw'ojereze, gw'ovvodde? Ani gw'oboggoledde era gw'oziimudde? Ye nze, Omutuukirivu wa Yisirayeli.
23
Otumye ababaka bo okunneewaanirako nga bwe wakozesa amagaali go, n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti wasenserera ddala mu bitundu by'ebibira ebisingayo okuba ebikwafu.
24
Weetenze bwe wasima enzizi, n'onywa amazzi mu nsi ez'ebunaayira, era nti ebigere by'abaserikale bo byakaza emigga gyonna egy'e Misiri.
25
“ ‘Tewakiwulirako nti nze nategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa obuyinza, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu okubifuula entuumu z'ebisasiro.
26
Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
27
“ ‘Naye mmanyi byonna ebikufaako, ne by'okola, era ne gy'ogenda. Era mmanyi ne bw'ondalukirako.
28
Mmaze okuwulira eddalu lyo, n'okwekulumbaza kwo. Kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.’ ”
29
Awo Yisaaya n'agamba Kabaka Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero akakulaga ebinaabaawo: mu mwaka guno, ne mu mwaka ogujja, mujja kulya mmere ya kyemeza. Naye mu mwaka oguddako, mulisiga emmere yammwe ne mugikungula. Mulisimba ennimiro z'emizabbibu, ne mulya ebibala byamu.
30
Abo abaliwonawo mu Buyudaaya, balyanya ng'ebimera ebisimba emirandira gyabyo wansi mu ttaka, ne bibala ebibala waggulu.
31
Wajja kubaawo abamu abawonawo mu Yerusaalemu ne ku Lusozi Siyooni. Mukama Nnannyinimagye amaliridde ekyo okukituukiriza.
32
“Bino Mukama by'agamba ku kabaka wa Assiriya: ‘Tajja kuyingira mu kibuga kino, wadde okulasaayo akasaale. Tajja kukirumba na ngabo, wadde okutuuma entuumu z'ettaka okukyetooloola.
33
Mu kkubo mwe yayita ng'ajja, era mw'aliddirayo, nga tayingidde mu kibuga kino. Nze Mukama, njogedde.
34
Nja kutaasa ekibuga kino, nkikuume, olw'ekitiibwa kyange, n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ”
35
Awo olwatuuka, mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abassiriya abaserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Enkeera ku makya, abo bonna nga bafu ba jjo!
36
Awo Sennakeribu kabaka wa Assiriya ne yeemulula n'agenda, n'addayo mu Kibuga Nineeve, n'abeera eyo.
37
Lumu bwe yali mu ssabo ng'asinza lubaale we Nisirooki, batabani be Adurammeleki ne Sarezeeri ne bamutta n'ebitala, ne baddukira mu nsi y'e Ararati, mutabani we Esaraddoni n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25