bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 13
2 Kings 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 14 →
1
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu nga Yowaasi mutabani wa Ahaaziya ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoyahaazi mutabani wa Yeehu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi na musanvu.
2
N'anyiiza Mukama, ng'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, n'atava mu bibi ebyo.
3
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayeli, n'aleka Hazayeeli kabaka wa Siriya, ne mutabani we Benihadadi okubawangulanga bulijjo.
4
Awo Yehoyahaazi ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira, kubanga yalaba kabaka wa Siriya bw'ayisa obubi Abayisirayeli.
5
Mukama n'awa Abayisirayeli omununuzi, ne baggyibwa mu bufuzi bw'Abassiriya. Abayisirayeli ne babeera mu ddembe nga bwe baabanga edda.
6
Kyokka ne batava mu bibi ab'ennyumba ya Yerobowaamu bye baabaleetera okukola ne bongera okubikolanga, n'ekifaananyi kya Asera lubaale omukazi ne kisigala mu Samariya.
7
Yehoyahaazi n'atasigazaawo ggye okuggyako abasajja amakumi ataano abeebagala embalaasi, amagaali kkumi, n'abaserikale omutwalo gumu abatambula ku bigere, kubanga kabaka wa Siriya yali azikirizza abalala bonna, n'abalinnyirira ng'enfuufu ey'omu gguuliro.
8
N'ebirala byonna Yehoyahaazi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
9
Yehoyahaazi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Yehowaasi n'amusikira ku bwakabaka.
10
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu nga Yowaasi ye kabaka wa Buyudaaya, Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi na mukaaga.
11
Era naye n'akola ebitasiimibwa Mukama. N'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, era n'atabivaamu.
12
N'ebirala byonna Yehowaasi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira mu kulwanyisa Amaziya kabaka wa Buyudaaya, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
13
Yehowaasi n'akisa omukono, ne yegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Samariya, mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli, mutabani we Yerobowaamu n'amusikira ku bwakabaka.
14
Awo Elisa n'alwala obulwadde obwamuviirako okufa. Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'agenda gy'ali okumulaba. N'amugamba nga bw'akaaba n'amaziga nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli!”
15
Elisa n'amugamba nti: “Kwata omutego n'obusaale.” Yehowaasi n'akwata omutego n'obusaale.
16
Elisa n'agamba Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli nti: “Teeka omukono gwo ku mutego.” Kabaka n'aguteekako. Elisa n'aleeta emikono gye ku mikono gya kabaka.
17
N'agamba nti: “Ggulawo eddirisa eritunudde ebuvanjuba.” N'aliggulawo. Awo Elisa n'agamba nti: “Lasa akasaale.” Kabaka n'alasa. Elisa n'agamba nti: “Ako ke kasaale akanaawangula Siriya. Olirwanyisa Abassiriya mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.”
18
Awo Elisa n'agamba Kabaka nti: “Kwata obusaale.” Kabaka wa Yisirayeli n'abukwata. Elisa n'amugamba nti: “Kuba ku ttaka.” Kabaka n'akuba ku ttaka emirundi esatu, n'alekera awo.
19
Omusajja wa Katonda n'asunguwalira kabaka, n'amugamba nti: “Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga. Olwo wandikubye Abassiriya okutuusa lwe wandibazikirizza! Naye kaakano ojja kubawangula emirundi esatu gyokka.”
20
Awo Elisa n'afa, ne bamuziika. Ebibinja by'Abamowaabu byazindanga ensi ya Yisirayeli omwaka nga gutandika.
21
Lwali lumu abamu ku Bayisirayeli bwe baali nga baliko omusajja gwe baziika, ne balaba ekimu ku bibinja ebyo nga kijja. Ne basuula omulambo mu ntaana ya Elisa. Omulambo gw'omusajja olwakoona ku magumba ga Elisa, omusajja n'alamuka, n'ayimirira ku magulu ge.
22
Hazayeeli kabaka wa Siriya n'anyigiriza Abayisirayeli mu mulembe gwonna ogwa Kabaka Yehoyahaazi.
23
Kyokka Mukama n'abakwatirwa ekisa, n'abasaasira. N'akyukira gye bali olw'endagaano gye yakola ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu kiseera ekyo.
24
Awo Hazayeeli kabaka wa Siriya n'akisa omukono, mutabani we Benihadadi n'amusikira ku bwakabaka.
25
Awo Yowaasi mutabani wa Yehoyahaazi n'awangula Benihadadi emirundi esatu, n'amuggyako ebibuga bya Yisirayeli, Benihadadi oyo bye yali awambye ng'alwanyisa Yehoyahaazi kitaawe wa Yehowaasi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25