bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 20
2 Kings 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 21 →
1
Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Omulanzi Yisaaya mutabani wa Amozi n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kuwona.”
2
Awo Heezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti:
3
“Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga mbadde nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima!” Heezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
4
Awo Yisaaya bwe yali tannayita na mu luggya olwawakati, Mukama n'amugamba nti:
5
“Ddayo ogambe Heezeekiya omukulembeze w'abantu bange nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu ojja kuyingira mu Ssinzizo.
6
Ndyongera emyaka kkumi n'etaano ku bulamu bwo era ndikuwonya, ne nkuggya ggwe n'ekibuga kino Yerusaalemu mu mikono gya kabaka wa Assiriya. Ndirwanirira ekibuga kino olw'ekitiibwa kyange n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ”
7
Awo Yisaaya n'agamba nti: “Muleete ebibala by'omutiini ebisekule.” Ne babireeta, ne babiteeka ku jjute lya Heezeekiya, Heezeekiya n'assuuka.
8
Awo Heezeekiya n'abuuza Yisaaya nti: “Kabonero ki akakakasa nga Mukama anamponya, era nga ku lunaku olwokusatu, nja kusobola okugenda nnyingire mu Ssinzizo?”
9
Yisaaya n'addamu nti: “Mukama ajja kukuwa akabonero akakakasa ng'ajja kutuukiriza ekyo ky'agambye. Kale oyagala ekisiikirize kigende mu maaso, oba kidde emabega amadaala kkumi?”
10
Heezeekiya n'addamu nti: “Kiba kyangu ekisiikirize okukka amadaala ekkumi mu maaso gye kibadde kigenda. Ekyo nedda, naye ekisiikirize leka kidde emabega amadaala kkumi.”
11
Yisaaya omulanzi ne yeegayirira Mukama, Mukama n'azzaayo ekisiikirize emabega ebbanga ery'amadaala ekkumi ge kyali kigenze mu maaso ku madaala Kabaka Ahazi ge yakola.
12
Mu nnaku ezo, kabaka wa Babilooniya Merodaki Baladani, mutabani wa Baladani, n'awulira nga Heezeekiya bwe yali alwadde. N'amuwandiikirayo ebbaluwa n'agimuweereza wamu n'ekirabo.
13
Heezeekiya n'ayaniriza abaabireeta, n'abalaga ebyobugagga bwe byonna mu nnyumba ye ey'eggwanika: ffeeza ne zaabu, n'ebyakaloosa, n'omuzigo ogw'omuwendo ennyo, n'ennyumba mw'atereka ebyokulwanyisa bye, na byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu lubiri lwe, wadde mu bwakabaka bwe bwonna ky'ataabalaga.
14
Awo Yisaaya omulanzi n'ajja eri Kabaka Heezeekiya, n'amubuuza nti: “Abasajja bano bagambye ki, era bavudde wa okujja gy'oli?” Heezeekiya n'addamu nti: “Bava mu nsi ey'ewala, ey'e Babilooniya.”
15
Era n'abuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Heezeekiya n'addamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye. Tewali kintu na kimu ku byobugagga bwange kye sibalaze.”
16
Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Wulira Mukama ky'agamba:
17
‘Manya ng'ekiseera kijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo, n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa kati, bitwalibwe e Babilooniya. Tewaliba na kimu kirisigala.
18
N'abamu ku b'ezzadde lyo abasibukira ddala mu ggwe, balitwalibwa ne balaayibwa okuweereza mu lubiri lwa kabaka wa Babilooniya.’ ”
19
Awo Heezeekiya n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde, kirungi.” Kubanga yagamba nti: “Ate si kirungi, oba nga walibaawo emirembe n'obutebenkevu mu kiseera kyange?”
20
N'ebirala byonna Heezeekiya bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, wamu n'ebyo ebinyumya nga bwe yasima ekidiba era n'omukutu, n'aleeta amazzi mu kibuga, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
21
Awo Heezeekiya n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, mutabani we Manasse n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25